POLIISI y’e Luweero etandise okunoonyereza ku ngeri omwana ow’emyaka 9 gye yabuze ku bazadde be ku kyalo Nsawo ekisangibwa mu ggombolola y’e Katikamu mu disitulikiti ye Luwero nga kino kireetedde abatuuze mu kitundu kino okwelaliikirira.
Kati wayise wiki nnamba nga Kasande tebamulaba. Grace abeera ne mukulu we Sarah Namugga agambye nti baalwawo okutegeera nti abuze kuba baasooka kulowooza nti yeebase wabula baalaba nga obudde bugenderedde okugenda mu kisenge mw’asula kwe kukizuula nti taliiyo.
Ono agambye nti oluvanyuma ly’okutegeera nti abuze batandika okunoonyeza buli wamu ku bitundu ebiriraanye nga kw’otadde ne mu mikwano gye naye nga taliiyo.
Ssentebe Simon Bugembe agambye nti ekitundu kyabwe kino kibadde kitebenkevu nnyo nga kibadde kizibu abaana okubula era n’asaba abazadde okubeera n’abaana baabwe ate bagezeeko okubatuuza okubabuulirira.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Sam Twineamazima agambye nti nga poliisi etandise okunoonyereza ku ngeri omwana gye yabuzeemu era omusango gwe guli ku ffayiro nnamba 32/30/8/26.