Amawulire

Fresh Kid eyatandika okusoma P2 ku Kampala Parents yeesunga PLE

EYALI minisita w’abaana n’abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi atwalidde Patrick Ssenyonjo amanyiddwa nga Fresh Kid kkaadi emwagaliza okukola ebigezo bya P7 obulungi ku Kampala Parents.

Nakiwala yagenze okwagaliza Fresh Kid okukola obulungi PLE.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EYALI minisita w’abaana n’abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi atwalidde Patrick Ssenyonjo amanyiddwa nga Fresh Kid kkaadi emwagaliza okukola ebigezo bya P7 obulungi ku Kampala Parents.
Nakiwala, eyali minisita ebiseera ebyo, ye yakoma ku Fresh Kid eyali afuuse ensonga mu 2019, obutaddayo kuyimba mu kivvulu kyonna mu biseera by’okusoma, kuba kimenya mateeka omuntu okukozesa omwana atannaweza myaka 18 ate mu kiro.

Akanyoolagano ako akaaliwo ne maneja wa Fresh Kid eyamuggya mu kyalo e Luweero okujja mu Kampala okuyimba, kaamuyamba kuba Rajiv Ruparelia (mutabani w’omugagga Sudhir Ruparelia) era bannannyini Kampala Parents baamuwa bbasale asomere obwereere okutuuka mu P7. Fresh Kid yali mu P2 mu kiseera ekyo nga kati agenda kutuula P7 mu bibuuzo bya PLE ebikolebwa enkya ku Lwokusatu ne ku Lwokuna.
Wiiki ewedde, Nakiwala yagenze ku Kampala Parents ng’abazadde basabira abaana baabwe okukola obulungi ebibuuzo era okusaba kwakulembeddwaamu Ssaabalabirizi wa Uganda Dr. Stephen Kazimba Mugalu. Nakiwala yasabye Fresh Kid obutaswaza baana bato ne Bannayuganda abamuwagira mu myuziki kuba balindiridde okutegeera ebinaava mu bigezo bye ebya P7.
Ye Fresh Kid, yeebazizza Nakiwala okubeera olujegere olwamutuusa mu bulamu obulungi n’asomerako ku Kampala Parents. Era yasiimye Sudhir Ruparelia ne Rajiv okubeera ettaala mu bulamu bwe nga mu kiseera kino naye Oluzungu alya lulye era n’abasuubiza obutabaswaza kuba yeetegese okuyita bulungi.

Tags: