ABAVUBUKA abatannawasa ab’ekibiina kya Sons of the King mu bulabirizi bw’e Namirembe batendekeddwa okwewala eby'omukwano nga bato n'abakuze okubyegendereza era baweereddwa obukodyo obw'enjawulo obujja okubayamba okubeera abawanguzi mu nsi.
Bino byabatendekeddwa abaweereza abenjawulo n'abasomesa ku synod Hall e Namirembe mu lukung'aana Olwategekeddwa ekitongole ky’abavubuka nga lwetabiddwamu abavubuka abatannawasa abasukka mu 300.

Rev. Grace Jorram Kavuma ng'abuulira abavuba aba Sons of The King e Namirembe
Rev. Canon Jonathan Kisawuzi Ssalongo eyali ddiini wa Luttiko e Namirembe, akubirizza abavubuka okutambulira mu butukuvu bwa Katonda kibayambe okwewala ebinabasula mu mitawaana.
Dr. Henry Asiimwe omusomesa mu ntendekero e Makerere, alabudde abavubuka okwewala okwenyigira mu by’omukwano ng’emyaka gikyali mito,yasabye abavubuka okunoonyereza ku neeyisa y’abawala n’okwebuzanga ku bazadde mu kifo kyokwebuuza ku mitimbagano.
Ye Chaplain wa King’s College Budo, Rev. Abraham Kato Nkata, abakuutidde okukomya okweraga amanyi n’okusosola mu bantu, wabula bawe buli muntu ekitiibwa.
Ate ye Rev. Grace Joram Kavuma omusumba w’e Bbuye-Kigoowa, abasabye okwewala okumalira obudde mu by’obufuzi n’emikutu gimigata bantu, wabula okusoma n’okwekulakulanya bakukolere ku musingi gwa kukkiriza mu Yesu Kristo.

Abavubuka be Namirembe nga bakwasa Rev.Grace Jorram ekifaananyi kyebaamukoledde
Omukulu w’ekitongole ky’abavubuka, Tefeero Lule Lubwama, ne Aselem Tumushime akuulira Sons of the King e Namirembe, baalaajanidde abazadde okutwalanga abaana baabwe mu nkungaana z’ekkanisa batendekebwe empisa.
Baagambye nti ebikolwa ebyesittaza ng’obutemu, obubbi n'obuffere ebikolebwa abalenzi ne basaba abazadde okulungamya abaana ab’obulenzi n'ab'obuwala kyenkanyi okuzimba eggwanga ery’obuvunanyizibwa.