ABAKULEMBEZE ba Kampala batongozza okukola oluguudo lwa Kinawattaka Road olubadde luludde nga lutawaanya abalukozesa olw’embeera embi mwerubadde Minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda n’asaba abatuuze abalulinaanye okulonkoma abo bonna abanenyigira mu kubulankanya ebikozesebwa...

Okutongoza okukola oluguudo

Okutongoza okukola oluguudo
Balimwezo ategezezza nga oluguudo luno bweruli olukulu ennyo kubanga luyitako nnyo emmotoka ez’ebyamaguzi kyokka n’ategeeza nga bwebatagenda kuttira muntu yenna ku liiso analuzannyirako nga luwedde ku nkomerero y’omwaka guno.

Okutongoza okukola oluguudo
Akulira KCCA Hajat Sharifah Buzeki asabye abantu okukozesa obulungi oluguudo luno bwerunaaba luwedde kubanga sente ezirugendako ziba zaabwe eziva mu kuwa omusolo.
Ategezezza nga bwebagenda okulukola nga lwa mulembe okwewala amataba agabadde gatawanya abantu mu kitundu kino.