Amawulire

Minisita ya Works ne KCCA basisinkanye okutema empenda z'okumalawo Jam mu kibuga a

Minisita w'ebyentambula n'emirimu Fred Byamukama n'abakungu abalala okuva mu minisitule basisinkanye abakungu okuva mu kitongole kya KCCA nga bakulembeddwaamu Lord Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Ronald Balimwezo Nsubuga okukubaganya ebirowoozo ku nkola y'emirimu.

Aba KCCA nga bali mu nsisinkano ne Fred Byabakama akulira minisitule y'enguudo n'emirimu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Minisita w'ebyentambula n'emirimu Fred Byamukama n'abakungu abalala okuva mu minisitule basisinkanye abakungu okuva mu kitongole kya KCCA nga bakulembeddwaamu Lord Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Ronald Balimwezo Nsubuga okukubaganya ebirowoozo ku nkola y'emirimu.

Ensinsinkano eno ebadde ku offices za Minisitule y'ebyentambula n'emirimu era ng'ebimu ku biteeseddwako mulimu okutema empenda ezikendeeza Jam mu kibuga, okutandika okuzimba oluguudo lwa lwa Bombo Express Highway.

Aba KCCA nga bali mu nsisinkano ne Minisita Fred Byamukama

Aba KCCA nga bali mu nsisinkano ne Minisita Fred Byamukama

Byabakama ategeezezza nti baafunye obuwumbi 40 bwebagenda okukozesa okukola enguudo ezeegatta ku Express Highway omuli olwa Busega Roundabout, Bwaise kampala era nga Byamukama yeeyamye okulogana obulungi ne KCCA okulaba nga bakulaakulanya ekibuga n'enguuzo ezikyetoolodde.

Ye Mmeeya wa Kampala Ronald Balimwezo ategeezezza nti Uganda efiirwa ensimbi eziri mu 10Trillions nga kino kiva ku nguudo embi eziri mu kibuga ezivaako Jam okweyongera.

Tags: