BASSENTEBE 19 abaalondebwa mu munisipaali ye Nakawa tebakubye birayiro ne basigala nga beemulugunya, abalayidde ne balagibwa okwewalira ddaala okulya enguzi.
Okulayira kuno okwabade ku kitebe kya Munisipaali ye Nakawa e Nagulu era nga kwakulembedwamu town clerk we Nakawa moses Ssempa era ng’obwedda balayira basinziira ku miruka mwebasangibwa.

Bassentebe nga bakub ebirayiro
Ssempa yagambye ba Ssentebe nti akakiiko k’ebyokulonda kabalinako okwemulugunya nga kwatekebwayo abali mu bantu bebavuganya nabo nga tebaamatira ngeri gyebawangulwamu wabula yabagambye olunamaliriza okugonjoola okwemulugunya kuno bajja kulayira.
Ssentebe wa zooni ya Mutola e Ntinda, Musa Lukyamuzi ng’ono y’omu ku baaganiddwa okulayira yemulugunyiza n’agamba nti yawangulira waggulu nnyo era banne bwebali mu lwokaano nebajja okubalayiza.
Balimwezo yeyamye nga bwebagenda okuwa bassentebe emisomo okubabangula mu ngeri y’obukulembeze obutambulira ku mateeka okukakasa nti abalonzi bonna bafuna obuweereza mu mazima n’obwenkanya era n’akuutir abakulembeze okwewanga ebitiibwa.

Bassentebe by'ebyalo nga bakuba ebirayiro
RCC we Nakawa Edrine Benesa yalabudde bassentebe abamanyiddwa mu kwenyigira mu mivuyo ku byalo n’ategeeza nga bano bw’atagenda kubakkiriza kugenda mu maaso nga bakola efujjo lino.
Bassentebe abalayiziddwa beyamye okuweereza mu bwenkanya nga tebafuddeyo ku bibiina wadde amawanga kubanga obuweereza bwetaagibwa abalonzi bonna.
Ssempa yeemulugunyiza ne ku bam uku basentebe abalemedde Ssitampu nabagamba nti kino tebagenda kukiriza kubanga sitampu ezo za gavumenti ssi zaabwe ng’abantu balina okuzizaayo ku munisipaali bademu bazibawe buto.