OMUKAZI owolubuto abadde asulirira okuzaala, afiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Bududa nga bagamba nti walibaawo obulagajjavu okuva mu basawo.
Sandra khabuya 32 ng'abadde mutuuze w'e Namarare mu muluka gw'e Nabafu mu Ggombolola y'e Bushiribo e Bududa, y'afiiridde mu ddwaaliro lino , gy'abadde atwaliddwa bba ne mugandawe, okuzaala.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti, abantu be, balumiriza abasawo okumulagajjalira n'afa era nga mu kiseera kino, omulambo gutwaliddwa mu ggwanika okugwekebejja ,ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.