OMUNTU omu agambibwa okutigomya abatuuze b'e Nansana ne Wakiso mu kumenya amayumba gaabwe n'okubabba, akwatiddwa poliisi.
Ekikwekweto kikoleddwa mu Nansana West 11 A era ne bazuula tv 2, decorders 3 n'ebintu ebirala ebirowoozebwa okuba ebibbe.
Kigozi era ataambuzza abasirikale ba poliisi n'abalaga ebifo eby'enjawulo mwazze abba n'ebintu byazze abba , okuli tv, ssente ne kalonda omulala era n'abatuusa ne ku bantu abalala babiri abamugulako ebibbe okuli Brian Tuumwa 29 nga naye bamusanze n'ebintu ebiwerako.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti ekikwekweto kikyagenda mu maaso.