Amawulire

ABANTU 8 nga kuliko n'abekitongole kya NIRA 4, bakwatiddwa poliisi e Mbale, ku bigambibwa nti babadde bajja ssente ku bantu,

ABANTU 8 nga kuliko n'abekitongole kya NIRA 4, bakwatiddwa poliisi e Mbale, ku bigambibwa nti babadde bajja ssente ku bantu, okubafunira endagamuntu n'okujingirira ebiwandiiko.

ABANTU 8 nga kuliko n'abekitongole kya NIRA 4, bakwatiddwa poliisi e Mbale, ku bigambibwa nti babadde bajja ssente ku bantu,
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU 8 nga kuliko n'abekitongole kya NIRA 4, bakwatiddwa poliisi e Mbale, ku bigambibwa nti babadde bajja ssente ku bantu, okubafunira endagamuntu n'okujingirira ebiwandiiko.

Bino,bibadde Sekelele mu muluka gw'e Bukhumwa mu Ggombolola y'e Bumbobi e Mbale, bwe bakutte abantu okuli Peter Khatuli, Joseph Manyasi, Guloba Frank Mukisa ne Lameck Wamauya, abakozi mu kitongole kya NIRA.

Abalala abakwatiddwa, kuliko Anthony Kujuna, Ritah Kembabazi, Bashir Mulengi ne Henry Gibson Wamauya ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

Kidiridde Omubaka wa gavumenti e Mbale, okufuna amawulire ng'abamu ku bakozi b'ekitongole bwe babadde bajja ssente ku bantu nga bagenze okwewandiisa n'okufuna endagamuntu.

Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, ategeezezza nti babadde bajingirira ebbaluwa za LC 1 eri abo abatazirina ne babasaba ssente , kwe kusindika bambega ne bakwatako Munaana nga kuliko abakozi ba NIRA 4 , n'abantu abalala

Tags: