BANNAMATEEKA bonna mu ggwanga bakubiriziddwa okweyambisa tekinologiya aliwo mu nkola yaabwe ey’emirimu kibasobozese okwongera okuwa bannayuganda obuwereeza obw’omutindo.

Anthony Asiimwe ( ow'okusatu ku kkono) ng'ali wamu n'abamu ku bannamateeka mu kutongoza kawefube w'okutumbula enkozesa ya tekonologiya mu nkola y'emirimu gyabwe
Bino byogeddwa amyuka Ssentebe w’ekibiina ekibagatta ekya Uganda Law Society Anthony Asiimwe mu lukungaana lwa Bannamawulire bwebatuuzizza ku kitebe kyabwe ku Acacia Avenue mu Kampala okwanjula obwetaavu bwebalina mu kwongera okukozesa tekonologiya aliwo mu nkola yabwe ey’emirimu naddala mu kiseera kino nga bateekateeka olukiiko lwabwe tabamiruka.
Asiimwe agambye nti ensangi zino Bannayuganda bakola ebintu bingi nga bakozesa ebyetaaga obuweereza bwa bannamateeka kyokka nga kikaalubiriza abamu olw’okwesanga ng’oluusi tebasobola kukozesa tekinologiya aliwo okubaweereza.
Yayongeddeko nti gyebuvuddeko, ne Ssaabalamuzi Flavian Nzeija yalaangirira nti bannamateeka mu kkooti bagenda kukomya okukozesanga empapula mu kkooti wabula bakozesenga enkola ya tekinologiya n’omutimbagano kale nga bannamateeka balina okwetegekera enkola eno.

Tony Kiire Kalandi (ku kkono) ng'ayogera eri Bannamawulire. Ku ddyo ye Anthony Asiimwe
Ate Munnamateeka Tonny Kiire Kalandi nga ye Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka tabamiruka wa Bannamateeka ow’okubeera e Munyonyo.
Isaac Otim yalabudde bannamateeka banne nti singa tebeeyambisa omukisa guno nebeeyubula mu bya tekinologiya, omugaso gwabwe mu ggwanga gwolekedde okukendeera abantu batandike okukozesa ebyuma bikalimagezi okwetusaako obuweereza obwalibadde bubaweebwa bannamateeka