Amawulire

Abavubuka b'e Namirembe bakiise e Mmengo

OBUKULEMBEZE obuggya obw’abavubuka mu Bulabirizi bw’e Namirembe bukiise e Mmengo okwegatta ku nteekateeka z’okukulaakulanya Obwakabaka.

Katikkiro Mayiga (wakati) nga yeebaza Arthur Kalumba okukulemberamu abavubuka b'Obulabirizi bw'e Namirembe okukiika e Mmengo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OBUKULEMBEZE obuggya obw’abavubuka mu Bulabirizi bw’e Namirembe bukiise e Mmengo okwegatta ku nteekateeka z’okukulaakulanya Obwakabaka.
Baakulembeddwa ssentebe waabwe, Arthur Kalumba ne bannaddiini okuva ku Lutikko e Namirembe okwabadde Rev. Stephen Lumu Lwasi, atwala eby’okubuulira enjiri n’abalala. Baayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga.

Baawaddeyo 1,000,000/- ng’oluwalo ne 1,000,000/- ku mulimu Obwakabaka gwe buliko ogw’okugula eryato erinaakozesebwa mu bujjanjabi mu bizinga by’e Ssese ne Buvuma.
Mayiga yeebazizza abavubuka olw’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka n’abasaba okwettanira okumanya n’okukulaakulanya obuwangwa bwabwe.
“Obuwangwa kitegeeza okutegeera ebikwetoolodde. Ebikwetoolodde bwe buwangwa bwo. Mulimu olulimi, enneeyisa, ennyambala n’ebirala bingi,” Mayiga bwe yagambye.
Yabakuutidde okwagala n’okutegeera Katonda, okuba n’ebiruubirirwa ebinene, okukola obutakoowa, okukola ebigasa abantu, okugumiikiriza n'okutambuliranga mu ssuubi.
Teophil Lule akulira ekitongole ky'abavubuka mu Bulabirizi e Namirembe yagambye nti, obuvunaanyizibwa bwabwe kwe kubalambika mu bukulembeze, okwezuulamu ebitone n’okusaasaanya ekigambo kya Katonda

Tags: