AMAKA mangi gakola nga amakuumiro g’ebiwuka eby’enjawulo wabula nga bannannyini go baabifuula mikwano gyabwe olw’obutamanya bulabe bwe birina eri obulamu kyokka nga bivuddeko oluusi n’okubatta kuba bye bisinga okutambuza obuwuka obuleeta endwadde ez’obulabe.
Dr. Ibrahim Katende, okuva ku Skirt Medical Centre e Mutungo-Biina, annyonnyodde nti, abantu abalina ebisolo balina okubeera abeegendereza kubanga ebisolo nga embwa, ente byekwekamu ebiwuka nga enkwa, enkukunyi ne bisaasaanya obulwadde mu bantu.
Omukugu agamba nti, bw’okitegeera nti, olumbiddwa obuwuka mu maka go tolina kufuuyirira na ddagala ly’osanze wabula olina kwekwata mukugu waabyo n’afuuyira mu mitendera bisobole okusaanyizibwawo.
EBIWUKA BY’OSIBYE MU MAKA GO N’ENDWADDE ZE BIREETA
1 Ensowera : Zino zisiiba mu bifo ebijama era zirya bicaafu okuli ne mu kaabuyonjo gye bisomba obulwadde obw’enjawulo nga singa zigwa ku kyokulya oba ekyokunywa kyo ofuna ekiddukano eky’omusaayi, kkolera, omusujja agw’omu byenda, n’endala nnyingi.
Omusawo agamba nti, omuntu asobola obutaddamu kulya bulungi kubanga olubuto buli ssaawa lubeera lumuluma ng’ate buli ky’alya addukana.
2 Ebiyenje : Abantu abeesibako ebintu ebikadde mu nnyumba okugeza engoye, emifaliso, ebikopo, empapula n’obutayonja kaabuyonjo n’ebinnya ebigendamu kazambi ebirala tebaggweebwako biyenje kuba babikolera amaka mwe byeyagalira omuli enzikiza n’akabugumu mwe byalulira.
Eno gye biva ne bitambulira n’okulya ku mmere yammwe omuli embisi n’enfumbe. Alidde ku mmere eno addukana, afuna alaje olw’olusu olukivaamu, n’okutaataaganyizibwa mu kussa.
3 Ebiku : Omuntu alina ebiku ewuwe asobola okubitambuza ng’akyaddeko mu kifo ekirala, mu mmotoka ze tutambuliramu namwo bibeeramu ate nga kyangu ebiku okukuluma n’otandikaokwetakula ekikosa olususu ate n’okukunyunyuntamu omusaayi.
Ebiku biremera mu maka agabeera n’emifaliso emikadde, engoye ennyingi enkyafu nga zisaasaanyizibwa buli we zisanze, ne mu bintu ebirala.
4 Ensiri : Dr. Douglas Remera, okuva ku ddwaaliro lya St. Kizito Health Centre e Bwaise annyonnyola nti, ensiri zibeera mu bifo ebiziyivu okugeza; ensiko, ebifo ebiregamamu amazzi, ebidiba, kasasiro, awali enzikiza wabeere mu nju, n’ebirala. Ensiri ng’ekulumye ekulwaza omusujja gw’ensiri naddala singa obeera tosuze mu katimba k’ensiri.
5 Emmese : Waliwo ebintu eby’awaka omwekwekebwa emmese naddala ebyakaddiwa, ebiri mu nzigotta, awasuulibwa emmere n’ebirala mwe zizaalira. Zino zitambuza endwadde ez’enjawulo omuli; eziva ku buwuka obwa vayiraasi, bakitiriya n’ebiwuka. Muno mulimu obwa ‘Leptospirosis’ nga buno buyita mu musulo gw’emmese nga buno buyita mu mazzi oba ettaka ngayenna alinnya we buli abufuna. Obulabira ku bubonero obwefaanaanyiriza obwa ssennyiga, okutuuka ku kukosa ebitundu by’omubiri ebirala ng’ensigo, ekibumba ne mulalama.
Obulwadde bwa ‘Hantavirus Pulmonary Syndrome’ omuntu bw’afuna ng’awunyirizza omusulo gw’emmese, obusa bwazo oba amalusu singa bisukka ofuna obuzibu obwekuusa ku kussa ekiyinza n’okuvaako okufa.
Obwa ‘Salmonellosis’ obutambuzibwa bakitiriya ali mu busa bw’emmese singa bugenda mu mmere, kirwaza ekyenda, okuddukana, omusjja n’okulumizibwa olubuto.
Omusujja gw’emmese oguva ku kulumwa emmese endwadde ekireeta omusujja, okubutuka olususu, okulumwa ennyingo, n’endwadde endala nnyingi.
6 Enkukunyi : Zino ziva ku bisolo eby’awaka naddala mu byoya by’embwa, kkapa, n’ebirala nga tebiyonjebwa bulungi.
7 Enkwa : Zino ziva ku bisolo nga ente, embuzi, embwa,n’ebirala. Zino zinuuna omusaayi mu mubiri, ekireeta endwadde ez’enjawulo.
8 Ensekere : Zino ziva ku bucaafu by’oku mubiri nti, singa omuntu adding’ana engoye ate nga tanaaba emikisa gy’okulumbibwa ensekere giba waggulu n’abatayonja nviiri zaabwe.
ENGERI GY’OSOBOLA OKUGOBAMU EBIWUKA BINO
l Okufuuyira obulungi n’eddagala eritta ebiwuka eby’enjawulo nga kyetaaga n’ofuna omukugu n’akikola.
l Okusula mu katimba k’ensiri okuziyiza omusujja. Waliwo n’eddagala erigoba ensiri ly’osobola okweyambisa okugoba n’okutta ensiri.
l Okwewala ebintu ebikadde mu nnyumba, n’okukuuma obuyonjo. Kirungi okubikung’aanya n’okubyokya.
l Okusaawa ensiko ekuli okumpi n’awaka. Tolina kulindamuddo kukula wabula olina okugusaawa n’okufuuyira eddagala okusaanyaawo ebisulo by’ensiri.
l Obutaleka mmere ku masowaani ne mu bintu ebirala ebisikiriza emmese, ebiyenje, n’ebiwuka ebirala.
l Okuyonja awaka buli kiseera n’okuggyawo kasasiro okugoba emmese n’ebiwuka ebirala.
l Okuyonja ebisolo by’awaka naddala embwa ne kkapa ebisinga okutubeera okumpi.
l Okutereka amazzi n’emmere nga bibikkiddwaako okutangira emmese n’ebiwuka ebirala okugagwamu n’okunywamu.
Dr. Benard Bwambale, omukugu mu by’endiisa okuva ku Global Consumer Center (CONSENT) e Kasangati agamba nti, ebiwuka gye bikoma okulya ku mmere y’omuntu n’ebirungo okukendeera ekireetera omubiri okunafuwa nga tekifunye birungo bimala n’emmere okukola obutwa.
l Okuggyawo amazzi agalegamye awaka n’okwetooloola. Kino kiyamba okusaanyaawo ebifo ensiri we zaalulira.
Omukugu agamba nti, musobola okusimula ebidiba ne mubiggyamu amazzi agalegamye