Wabaddewo ekikangabwa, maama n'omwana we, ababadde batambulira ku bodaboda bwe bagudde mu mipiira gya loole bombi n'ebattirawo.
Bonna babadde bava ku ludda lumu okwolekera Jinja kyokka ng'owa bbooda avugira abeebigere we batambulira ng'agezaako okweyunga mu luguudo kwe kutagala n'agwa mu loole.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti afudde ye Halima Babirye 25 n'omwana we Rida Bakulimya 2.
Agasseeko nti ddereeva wa loole n'omuvuzi wa pikipiki bombi babuzeewo era ng'ebidduka bikuumirwa ku poliisi e Iganga ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.