MU KAWEEFUBE w'okukendeeza omujjuzo mu makomera, ab'ekitongole kino, baliko ekizimbe ky'ekkomera ly'abasibe abawera nga 200 , kye baguddewo e Isimba Prison farm e Masindi.
Ekizimbe kizimbiddwa Prison Engineering Gang, nga kirimu ebisenge ebinene bibiri nga buli kimu kyakubeeramu abasibe 100 era nga mulimu kaabuyonjo ennungi, ebinaabiro, ebifo we booleza engoye.
Kitegeezeddwa era nti kuliko eddwaliro mwe bajjanjabira abasibe n'abantu abalala. Tiyo, asabye abasibe okwongera okubeera abayonjo , ab’empisa , okwongera okubanguka mu bukodyo bw'okulima n'okulunda mu ffaamu eno eyatandikibwawo mu 1962 ng'evaamu ensawo za Kasolo 10,000 buli sizoni nga kuliko n'ente eziwera nga 698.
Omujjuzo mu makomera, guzze gukendeezebwa mu bitundu nga Rwimi, Isingiro, Amita, Bubulo, Masafu, Lira, Luzira women, Rukungiri, Ngogwe , Mityana ne Yumbe oluvannyuma lw'okuzimba ebizimbe