OMUKAMA Oyo Rukidi IV aterekeddwa mu masiro g'Abakama b'e Tooro e Karambi olw'eggulo lwa leero.

Omukama omuggya ateereddwako

Mmotoka za bakuumaddembe ezazze obukubirire mu kuziika
Ensonga z'okulwawo okuziika zeetolooledde ku nnyina Namasole Best Kemigisa akalambidde okutuuka ku ntaana y'Omwana we okuziika ate abamanyi obuwangwa bwa Tooro bagamba nti abakazi tebagenda ku ntaana y'Omukama.

Abantu abawerekedde omukama okumuziika e Karambi
Kigambibwa nti yatudde mu mmotoka ebaddemu omubiri gwa Oyo ng'agamba nti balina okutereeza nsonga ze oba si kyo omubiri gwe tebagutwala.
Oluvannyuma abakulu mu gavumenti boogedde naye emmotoka ye neesimbula n’egenda ku ntaana.

Mmotoka ya maama Best Kemigisa bw'ebadde egaaniddwa okuyingira gye babadde bagenda okutereka Omukama