Poliisi mu Kampala ekyagenda mu maaso n'okuyigga bonna abali emabega w'ettemu ly'omuyizi wa KIU, Patricia Kairu, eyattibwa omulambo gwe ne bagusuula e Kiyanja cell e Nabbingo mu Nsangi nga Aug 4 2026.
Poliisi yasoose kukwata Abdul swabur Mawanda okuva e Kiyanja nga kigambibwa nti ono ye yalina okusisinkana omugenzi e Kyengera ku olwo.
Poliisi era yakutte Philian Matata omukuumi ku Seroma Hardware ne mukazi we Robinah Ayikoru abagambibwa nti be baabadde n'essimu y’omugenzi nabo abaalajanye nga bwe baali bagiguze okuva ku dduuka ku kizimbe kya KK plaza.
Abantu abalala 37 okuva mu maduuka 15 ku kizimbe kino , baakwatiddwa n'essimu 360 ezirowoozebwa nazo okuba enzibe.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti ku bano, bataano basangiddwa mu dduuka omwavudde essimu nga kuliko Baker Maiso, Brian Kayongo, Morris Mugerwa, Christine Nagawa ne Brian Balyejjusa . Okubuuliriza, kugenda mu maaso.