Amawulire

Abagambibwa okulwa nga batigomya abatuuze mu 'estate' za Jomayi poliisi ebakutte

Abantu 3 abagambibwa okulwa nga batigomya abatuuze estate ya Jomayi Kwologoma ne Najjeera, bakwatiddwa poliisi n'ebiso.

Abagambibwa okulwa nga batigomya abatuuze mu 'estate' za Jomayi poliisi ebakutte
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 3 abagambibwa okulwa nga batigomya abatuuze estate ya Jomayi Kwologoma ne Najjeera, bakwatiddwa poliisi n'ebiso.

Abakwatiddwa, kuliko Isma Ddamba 30 ow'e Lugoba Nabweru e Nansana, John Musisi 21 ne Vicent Katemba 30 ng'ono yabadde avuga pikipiki nnamba UMA 369NH kwe babadde batambulira.

Abaakwatiddwa

Abaakwatiddwa

Mu kubakunya, kigambibwa nti bakkirizza nga bwe baludde nga babba abatuuze era nga basangiddwa n'ejjambiya okumpi n'enkulungo awali ekkubo erigenda ku Jomayi Estate.

Basangiddwa n'essimu ekika kya Iphone wamu n'akasawo k'omukazi n'ebintu ebirala ebirowoozebwa oku ebibbe.

Bakwatiddwa poliisi y'e Kiwologoma nga bali wamu n'ey’e Najjeera era ng'abakwate bakuumirwa ku poliisi y'e Kira diviizoni okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi, Luke Owoyesigyire.

Tags:
Amawulire
Jomayi
Kiwologoma