Amawulire

Abazigu bayingiridde owabbooda ne bamutta ne ffamire ye yonna

Abantu abatannamanyika bayingiridde omuvuzi wa bodaboda ne bamutemaatema ne mukazi we n'omwana, oluvannyuma ennyumba omubadde emirambo ne bagikumako omuliro n'ebengeya.

Abazigu bayingiridde owabbooda ne bamutta ne ffamire ye yonna
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu abatannamanyika bayingiridde omuvuzi wa bodaboda ne bamutemaatema ne mukazi we n'omwana, oluvannyuma ennyumba omubadde emirambo ne bagikumako omuliro n'ebengeya.

Pikipiki y'omugenzi abatemu bakuulise nayo era nga mu kiseera kino, poliisi egenda mu maaso n'okubayigga.

Bibadde ku kyalo Kimanto A mu muluka gw'e Bodondo mu ggombolola y'e Bukanga mu disitulikiti y'e Luuka, Charles Dennis Isabirye 35, Nakasango amanyiddwa nga Shamillah Kampi 26 n'omwana waabwe omulenzi ow'emyaka ebiri bwe babasse oluvannyuma, emirambo gyabwe nagyo ne bagyokyera mu nnyumba.

Kigambibwa nti bano, babalumbye kiro, ennyumba ne bagiteekera omuliro era ng'emirambo gyabwe okubadde ebiwundu eby’amaanyi, gizuuliddwa nkeera.

Poliisi okuva e Bukanga ne Busiiro, emirambo bagitutte mu ggwanika ng'okunoonyereza , kugenda mu maaso. Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, asabye oyo yenna alina amawulire ku ttemu lino, okutyemya ku poliisi.

Tags:
Amawulire
nnyumba
emirambo
bagikumako
Bodondo
Charles Dennis Isabirye 35
Busoga North