Amawulire

AMAWULIREEby’omwana wa Oyo:Ekibalo ekiriwo okulya entebe

EBY'OMWANA w'Omukama Oyo gw'agambibwa okuleka nga omusika we byongedde okutabula Bannayuganda naddala Abatooro olwa jjajjaawe Best Kemigisa okwesigaliza ebimukwatako.

Minisita Balaam (ku kkono) ng’akutte Edward Rukidi Kijanangoma (Omukama omupya) mu ngalo. Ku ddyo ye Musuuga Kamurasi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EBY'OMWANA w'Omukama Oyo gw'agambibwa okuleka nga omusika we byongedde okutabula Bannayuganda naddala Abatooro olwa jjajjaawe Best Kemigisa okwesigaliza ebimukwatako.
'Omwana' ono yasooka kwogerwa Omuhikirwa wa Tooro, Rwomiire Akiiki bwe yali abikira eggwanga nga August 27, 2026 n'oluvannyuma Pulezidenti Museveni naye bwe yali awa obubaka bwe ku kufa kwa Oyo n'akikkaatiriza nti, 'Ekirungi maama w’Omukama, Best Kemigisa yambuulidde ku ssimu nti omugenzi alese omwana w’obulenzi.

Wabula n'okutuusa ng'Omukama aziikiddwa, eby’omwana wa Oyo, kigambibwa nti jjajjaawe Kemigisa yekka y'abimanyi bw'afaanana, emyaka gye, obuzaale bwe ne kalonda akakwata ku nnyina.
Akulira olulyo lw’Ababiito, Charles Kayondo Kamurasi Musuuga n'ab’olulyo lw'Ababiito bakyakalambidde nti omwana taliiyo. Omusuuga agamba nti singa Omulangira wa Oyo yaliyo, ye (Omusuuga) yandibadde yakimanyaako mu bukulu bwe kuba abadde ku lusegere lw’omugenzi okuva obuto.
EKIBALO KYA BEST KEMIGISA OKUSIRIKIRA OMWANA WA OYO
Waliwo abali ku lusegere lwa Kemigisa abaategeezezza Bukedde nti ekituufu Omukama Oyo yaleka omwana naye nga tebaagala kumulaga mu lujjudde mu kiseera kino.
Bagamba nti, Oyo obulamu bwe abadde teyeeyabiza nnyo Balangira nga tayagala nnyo bamanye bimukwatako. Eno y’ensonga lwaki n’obulwadde yagaana okububagamba ng’omumbejja Ruth Komuntale bwe yategeezezza mu kuziika ne Katikkiro yennyini n’atuuka okumanya ku ssaawa envannyuma.
Omu ku Balangira, Saul Mpuuga yagambye nti wadde nga talina bukakafu nti Oyo abadde n’omwana, kisobokera ddala, kuba empalana eri mu ffamire yali esobola okumuleetera okusirikira ekyama kino.
Bagamba nti, amangu ddala ng’amawulire gafulumye nti Oyo yalese Omulangira alinze okulya Eng’oma, waliwo abaagambirawo nti tayinza kubafuga kuba nnyina tabadde wa mpeta. Kino kitegeeza nti si beetegefu kumukkiriza era okumala gamuggyayo kisobola okumuteeka mu buzibu.
Waliwo n’ebigambibwa nti
Omulangira waali, kyokka alina emiziziko bwe kituuka ku nnyina amuzaala kuba alabika nga tali mu kimu ku bika by’Abatooro n’obulombololombo obulala obulemesa.
Emikolo gyennyini gy’okusuula emmwaanyi mu ntaana mwe baziika Omukama, Kemigisa akimanyi bulungi nti tegiriiko budde kuba ne Oyo yaziteekayo oluvannyuma lw’emyezi esatu nga bamaze okuziika kitaawe Omukama Mathew Kaboyo mu 1995.
Okuva Omukama lwe yafa, Kemigisa takyesigira ddala Musuuga kuba azze awakanya Omulangira nga tasoose wadde kwogerako naye eyagamba nti waali. Olukiiko lw’Ababiito lwalangirira Omukama omupya nga bakyali mu nteeseganya nga n’ebirala bye bazze bateesa balaga nti bo baliko oludda kwe basibidde nga tayinza kubeesiga kulaga muzzukulu we.
Olw’okuba nga waliwo ekiraamo ky’Omugenzi kye yawandiika nga September 14, 2022 nga kirabika bulungi alina okumusikira, talaba nsonga lwaki yeemenya n’abantu. Ekiraamo kigamba nti, alese omwana omulenzi akakasiddwa nti wuwe y’amusikiranga era y’alifuuka Omukama. Yategeeza nti bw’afanga nga tazadde, muganda we Yoweri Komwiswa (azaalibwa Omusuuga Charles Kamurasi) y’afuukanga Omukama.
Olw’okuba Ssaabawolereza wa Gavumenti, Sam Mayanja yawabudde nti ekiraamo kya Oyo kye kirina okuteekebwa mu nkola, Kemigisa talaba nsonga lwaki amala obudde n’abantu b’agamba nti baludde nga bamulwanyisa ng’ate asobola okweyambisa amateeka nga bwe yakola nga bateekako mutabani we Oyo mu 1995.
ENDAGAANO GYE BAAKOZE NGA BAGENDA OKUZIIKA OYO
Bwe baabadde bagenda okuziika Omukama Oyo nga September 12, 2026, waliwo endagaano eyakoleddwa wakati wa Gavumenti eyakiikiriddwa minisita w’ekikula ky’abantu Henry Tumukunde, oludda lwa nnyina wa Oyo, olulyo Olulangira, Omusuuga ne minisita omubeezi ow’ebyobuwangwa Mary Kuteesa Kamuli.
Kyakkaanyiziddwaako nti mu kiseera ky’okuziika, tewali mukolo gwonna ogukwatagana ku by’okufuna Omukama omupya, okulangirira oba ekikolwa ekirala kyonna ekiraga nti waliwo omuntu agenda okulya Nnamulondo nga bali mu masiro.
Abantu 20 bokka be bakkiriziddwa okutuuka we baziika era ng’amannya gaabwe gaasoose kukkaanyizibwako ne gaweerezebwa poliisi nga bukyali. Ebyokwerinda mu lukomera lw’amasiro we baziika byakoleddwaako poliisi yokka. Amagye gaagaaniddwa okuyingira munda mu masiro okuggyako nga wabaddewo embeera yonna ey’obulabe eyeetaagisa oba nga kibakakatako mu mateeka.
Maama w’Omukama yakkiriziddwa okwetaba mu kuziika n’abaserikale abamukuuma, kyokka nga balina okukwatagana ne poliisi.
Oluvannyuma lw’okuziika mu masiro, ebisumuluzo kyakkaanyiziddwaako biweebwe minisita Mary Kuteesa Kamuli era ekifo kisibwe nga tewali akkirizibwa kuddamu kukisaalimbiramu. Endagaano eyakoleddwa yabadde terina kumenyebwa era nga singa wabaawo akikoze, poliisi erina okutegeezebwa era bwe kiba kyetaagisizza n’okwekubira enduulu mu kkooti z’amateeka.
GAVUMENTI TEWALI GWE YATONGOZZA
Minisita w’ensonga za Ssemateeka, Norbert Mao yagambye nti mu kiseera kino Gavumenti emanyi nti entebe ya Omukama wa Tooro nkalu. Yagambye nti mu kiseera kino minisitule ye ne ofiisi ya Ssaabawolereza bakyekenneenya ensonga bawabule Pulezidenti ku kiddako. Kitegeeza mu kiseera kino tewali gwe bayinza kussa mu kyapa kya Gavumenti nga omutongole. Yagambye nti, amateeka gabalagira bwe wabaawo okusika omuguwa, okusooka okukkaanya nga tebannalonda Omukama.
ABAWAGIZI B’OMUKAMA OMUPYA TEBATUDDE
Eyali omwogezi w’olukiiko lw’Obukama Rev. Clovis Kyarimpa yagambye nti, awulira nti waliwo ekiraamo kya Oyo era kkooti ne bw’eneegamba nti kifuutu tebayinza kukigenderako kuba abantu aboogerwako ababiri mu kiraamo bakontana n’obuwangwa.
Kyarimpa yasabye abawakanya okulondebwa kwa Edward Rukidi Kijanangoma obutamala budde kuba ekinene kye bagenda okumuyamba kwe kumukakasa nti yalondebwa mu butuufu.
Yagambye nti, omwana wa Oyo ne mutabani w’Omusuuga tebasobola kulya Nnamulondo. Mu kiseera kino baatandise entegeka z’okutuuza Omukama omupya Abatooro gwe bakkiririzaamu.
AMAKULU G’ENTE ENJERU BUGANDA GYE YAWADDE TOORO
Abataka abakulu b’Ebika mu Buganda baatutte ente enjeru e Tooro eneekozesebwa mu mukolo ogunaasooka okuyingiza Omukama omupya mu Lubiri lwe e Karuziika mu kibuga Fort Portal.
Baakulembeddwa omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Namwama Augustine Kizito Mutumba ne bagikwasa akulira olulyo Olulangira e Tooro, Omusuuga Charles Kayondo Kamurasi. Omusuuga yagambye nti, omukolo guno ogusooka mukulu kuba Omukama aba atandise emikolo egimukkaliza ku Nnamulondo.
“Omukolo gw’okuyingiza Omukama mu lubiri gwakutandikira ku mulyango Mugabante era ente eno w’egenda okusalirwa. Emikolo gyonna wano we gitandikira. Mwebale nnyo, ebyammwe mumaliriza okubikola,” Kamurasi bwe yayogedde ne yeebaza Buganda olw’akabonero akooleka obumu ke yayolesezza.
Yagambye nti, mu mbeera yonna Obukama buteekwa okufuna Omukama omuggya, asuubirwa okutuuzibwa mu bbanga eritali ly’ewala wadde waliwo amayengo.
“Tujja kuteekako Omukama ne bwe wanaaba wakyaliwo emigozoobano, gijja kuggwa. Wano tugamba nti enkuba etonnya naye ekiseera kituuka n’ekya naye ne bino bijja kutuuka biggweewo,” Omusuuga bwe yagambye.Olw’okuba mu nnono za Buganda, abataka abakulu b’Ebika, tebaziika y’ensonga lwaki baagenze e Tooro okukubagiza.
Kamurasi yagambye nti, enkolagana wakati wa Buganda ne Tooro nnyweevu ddala n’agamba nti bw’okoona ku Buganda, obeera okoseza Tooro n’asaba omukwano ogwo gwongere okukuumibwa.
Munnabyafaayo Robert Nviiri ng’era mukiise mu lukiiko lwa Buganda yagambye nti, mu byafaayo Buganda ne Tooro tebalwanangako era n’Omukama George Kamurasi Rukidi III, jjajja wa Omukama omulonde Kijanangoma, ye yali kalabaalaba (Bestman) wa Ssekabaka Muteesa II ku mbaga ye bwe yali akuba Damalie Nakawombe enkanamu mu 1948

Tags: