Abakyala abeegattira mu kibiina kya Paragon Investment Club abasukka mu 30 babugaanye essanyu bwe babadde bafuna ebyapa by’ettaka lye basondedde omwaka.
Bano nga bakulemberwa omupunta Florence Nambooze Bbale baakungaanidde ku Hotel Africana ku Lwomukaaga nga September 12 ne balya, okunywa n’okunyumirwa amazina g’ekinnansi oluvannyuma Faaza Deogratius Kateregga Kiibi eyabadde omugenyi omukulu, n’abakwasa ebyapa byabwe wakati mu mizira.

Bap 13
Faaza Kiibi yabeebazizza okwerekereza ne basobola okwekulaakulanya.
Yasabye abasajja okukikkiriza nti bakyala kati basobola okwegulira ebintu okuli n’ettaka era n’asaba nti mu kifo ky’okubalwanyisa n’okubatulugunya, beetaaga okubazzaamu amaanyi kubanga okukulaakulana kwabwe tekuyamba bbo bokka wabula famire zaabwe n’eggwanga okutwaliza awamu. Kiibi yakubirizza abakyala obutakoma ku byapa bye baafunye wabula bongereko buli mwaka. Wabula yabasabye okusigala nga bawa abaami baabwe ne famire zaabwe ekitiibwa.
Ye omupunta Nambooze yagambye okuva ekibiina kino lwekyatandikibwawo mu 2019, abakyala n’abaami abasoba mu 500 be bakyegasseeko era ebyapa 1,000 bye byakagabibwa.

Bammemba abasukka mu 30 baafunye ebyapa
Yagambye nti amaanyi gaabwe gali mu kwegatta. Buli mwezi buli mmemba awaayo ssente ne bazigatta ne bagula ettaka oluvannyuma lye bagabanya ekyenkanyi buli mmemba n’afuna ekyapa mu mannya ge. Balina ettaka ku nguudo zonna; olw’e Masaka, Bombo, Jinja n’endala.
Yakubirizza abakyala n’abawala bonna abakola okufuba okulaba nga beefunira ettaka basobole okwetegekera obulamu bwabwe obw’omu maaso.