Amawulire

Bukedde ffamire etonedde eddwaliro ly'e Kayunga Ttivvi abalwadde balabireko ebigenda mu maas mu ggwanga

Bukedde tv ffamire ng’ekwataganye ne StarTimes Uganda, abamu ku batadde ssente mu kukyala kwa Bukedde e Kayunga bawaddeyo ttivvi bbiri, eri eddwaliro lya Kayunga Regional Referral Hospital.

By: Patrick Kibirango, Journalist @New Vision

Bukedde tv ffamire ng’ekwataganye ne StarTimes Uganda, abamu ku batadde ssente mu kukyala kwa Bukedde e Kayunga bawaddeyo ttivvi bbiri, eri eddwaliro lya Kayunga Regional Referral Hospital.

Dorah Naamala, maneja Rose n'aba star times nga bawaayo ttivvi

Zino zibakwasiddwa maneja wa Bukedde TV, Rose Kigongo ng’ali wamu ne maneja wa Bukedde Fa ma, Ronald Ssebutiko, Dorah Naamala ne Siraje Kizito.

Aba startimes baawaddeyo n'ebisowaani ne ttivvi

Avunaanyizibwa ku ddwaliro lino, Henry Kibirango, asiimye Bukedde olw’okubawa ebintu bino era n’ategeeza nti ttivvi zaakubeera nga ziyamba abalwadde okugoberera ebigenda mu maaso mu Uganda.

Tags:
Amawulire
Bukedde TV1
Tv1
Ffamire