Bukedde tv ffamire ng’ekwataganye ne StarTimes Uganda, abamu ku batadde ssente mu kukyala kwa Bukedde e Kayunga bawaddeyo ttivvi bbiri, eri eddwaliro lya Kayunga Regional Referral Hospital.

Dorah Naamala, maneja Rose n'aba star times nga bawaayo ttivvi

Aba startimes baawaddeyo n'ebisowaani ne ttivvi
Avunaanyizibwa ku ddwaliro lino, Henry Kibirango, asiimye Bukedde olw’okubawa ebintu bino era n’ategeeza nti ttivvi zaakubeera nga ziyamba abalwadde okugoberera ebigenda mu maaso mu Uganda.