Amawulire

Abattiddwa omutemu w’e Masaka baweze 80

OMUSAJJA abadde yeeyita Kuraishi Kamugisha kyokka awamu ng’amanyiddwa nga Fred Mujulizi agambibwa okutemula abantu e Masaka ebibye bikyalanda abantu bwe beeyongedde okwesomba nga bamulumiriza okubattira abaabwe.

Kuraishi Kamugisha ng'ali ku mpingu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUSAJJA abadde yeeyita Kuraishi Kamugisha kyokka awamu ng’amanyiddwa nga Fred Mujulizi agambibwa okutemula abantu e Masaka ebibye bikyalanda abantu bwe beeyongedde okwesomba nga bamulumiriza okubattira abaabwe.
Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka Twaha Kasirye yategeezezza nti we bwazibidde ku Lwokuna nga fayiro za Kamugisha ziweeza 80, nga kino kyavudde ku bantu ab’enjawulo abagenda mu maaso n’okweyiwa ku poliisi okumuwaako obujulizi ku bantu baabwe abattibwa mu bukambwe mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Abakyasembeyo okugenda ku poliisi okumulumiriza ye famire eyavudde e Kiruhura ng’eno yasabye poliisi okutwala omusajja ono mu bitundu bye Kiruhura okwongera okunoonyereza ku muntu waabwe eyattibwa mu bukambwe. Kasirye agamba nti wadde waliwo fayiro ezitwaliddwa ow’omuwaabi wa Gavumenti okusobola okubawabula ku ngeri gye bavunaanamu Mujulizi naye ate wakyaliwo endala empya poliisi z’ekyamaliriza.
POLIISI EKUTTE MUGANZI WA MUJULIZI
Poliisi y’e Masaka ekutte muganzi w’omusajja Kuraish Kamugisha ng’oluusi yeyeita Mujulizi agambibwa okutta abantu abasoba mu 50, mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’emukunya. Eyakwatiddwa ye Aminah Nambalirwe 23, ngono yakwatiddwa ku Lwokubiri ku kyalo Mpugwe mu divisoni ya Nyendo mukungwe mu
kibuga kye Masaka. Yakwatiddwa okuyambako poliisi mu kunoonyereza kw’eriko ku muganzi we ku misango gy’ettemu.
Ssentebe wa Sheikh Mpugwe, Ahmed Kaboggoza yategeezezza nti omukazi ono abadde amaze mu kitundu emyezi ebiri era ng’alinamu edduuka lya cakalacakala. Yagambye nti yakimanyaako nti poliisi ekutte omukyala ono wadde nga mu kiseera we baamukwatira
teyaliiwo era n’ategeeza nga Kamugisha bw’abadde tamulabangako mu kitundu kyokka oluvannyuma lw’okukwatibwa kw’omukazi ono aliraanwa be baamutegeezezza nga bwe baabadde balaba omusajja nga y’ensonga lwaki baazinze omuzigo gw’omuwala ono mu kiro. Sheik Kaboggoza yakubirizza balandiroodi okwanjulanga abapangisa baabwe mu b’obuyinza okwewala okusenza abamenyi b’amateeka ku mayumba gaabwe.

Tags: