Amawulire

NEMA etandise okumenya ebizimbe ebiri mu lutobazzi lw'e Lumpewo e Kajjansi

EKITONGOLE kya NEMA kitandise okuddaabulula olutobazzi lwa Lumpewo e Kajjansi mu Wakiso nga kimenya  agazimbe agazimbibwa mu lutobazzi luno mu bumenyi bw’amateeka.

NEMA etandise okumenya ebizimbe ebiri mu lutobazzi lw'e Lumpewo e Kajjansi
By: Benjamin Ssemwanga, Journalist @New Vision

EKITONGOLE kya NEMA kitandise okuddaabulula olutobazzi lwa Lumpewo e Kajjansi mu Wakiso nga kimenya  agazimbe agazimbibwa mu lutobazzi luno mu bumenyi bw’amateeka.

‎Bano bagamba nti kaweefube ono akolebwa ali mu mateeka era ne banannyini bizimbe bino bakkirizza era bamanyi buli kimu ekigenda mu maaso.

Ebimu ku bizimbe ebimenyeddwa olwaleero biriraanye ezimu ku estate z'omugagga Bulwadda

‎William Lubulwa omwogezi wa NEMA agamba nti kaweefube gwe batandise olwaleero bagenda kumenya ebizimbe byonna ebiri mu lutobazzi luno mu bukyamu.

‎Ono era agamba nti buli kimu ebikolebwa kiri mu mateeka nga okubimenya bagoberedde emitendera gyonna emituufu egyetaagisa.

Tags:
Amawulire
Lutobazzi
Lumpewo