EKITONGOLE kya NEMA kitandise okuddaabulula olutobazzi lwa Lumpewo e Kajjansi mu Wakiso nga kimenya agazimbe agazimbibwa mu lutobazzi luno mu bumenyi bw’amateeka.
Ebimu ku bizimbe ebimenyeddwa olwaleero biriraanye ezimu ku estate z'omugagga Bulwadda
William Lubulwa omwogezi wa NEMA agamba nti kaweefube gwe batandise olwaleero bagenda kumenya ebizimbe byonna ebiri mu lutobazzi luno mu bukyamu.
Ono era agamba nti buli kimu ebikolebwa kiri mu mateeka nga okubimenya bagoberedde emitendera gyonna emituufu egyetaagisa.