Aba bodaboda abavunaaniddwa okubba obukadde 50, basindikiddwa mu kkomera.

Abaasindikiddwa mu kkomera.
Basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Edgar Karakire owa kkooti ya City Hall ne bavunaanibwa obwakkondo wabula omulamuzi tabaganyizza kubaako kye boogera.
Bavunaaniddwa okubba obukadde 35 okuva ku Sylvia Muhorakyeye nga August 6, 2026 e Kiwatule n’essimu ye ya mitwalo 95.
Ssemanda ne Musoke bavunaaniddwa okubba obukadde 15 nga July 2,2026 Kalinaabiri Road Ntinda e Nakawa okuba ku Johnson Tayebwa Mugira.
Bano kigambibwa nti Jingo , Musoke ne Ssemanda Ku Rubis e Kamwokya babba Mariam Akampulira ensawo ya mitwalo 6, essimu ya mitwalo 29 mu 9,000/-, Samsung ya mitwalo 70 ne iPhone ya bukadde 3 n’emitwalo 45. Basindikiddwa mu kkomera okutuusa nga November 4, 2026.