KYADDAAKI abamu ku ba ssentebe b'ebyalo mu divizoni ye Nansana abataakuba birayiro gy'ebuvuddeko olw'emisango egyali gitwaliddwa mu kakiiko ke by'okulonda nga waliwo abawakanya obuwanguzi bwabwe balayiziddwa wakati mu kusagambizza ne nduulu okuva mu bawagizi babwe.
Bano abanna balayiziddwa mu offisi ya townclerk wa Nansana Rosset Namiiro oluvanyuma lw'akakiiko ke by'okulonda okufulumya olukalala lwa maanya ga ba ssentebe abalina okulayizibwa oluvanyuma lw'okwekenenya emisango egyatwalibwayo abaali bemulugunya ku buwanguzi bwabwe kyokka ebyalo bbibiri(2) byo ensonga tezinasalibwawo kakiiko kano.

Abaalondebwa nga balayizibwa
Ye Namukwaya Faridah omu ku balayidde asabye abaali bamuvuganya okusa ebbali enjawukana zabwe bakolere wamu okusitula ekitundu kyabwe naddala eby'okwerinda mu kitundu kya Nansana -kibulooka awaali wafuuse akatiro.
Ate ssentebe wa divizoni ye Nansana Sam mugabi Bukenya akuutidde ba ssentebe abalayiziddwa okukozesa obulungi office zabwe era betanire pulojekiti za gavumenti ezokwekulakulanya era bafube okulaba nga batuuza enkiiko naddala okumalawo ebikolwa by'obumenyi bwa mateeka Nansana addemu okweyagaza abantu bonna.