SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti Dr. Sam Mayanja yeekyusirizza mu kiti ng’embazzi n’awagira emikolo gy’okutikkira Omukama wa Tooro omuggya Edward Lukidi Nyabongo gigende mu maaso ng’ate yali yasooka kugiwakanya.
Dr. Mayanja yagambye nti kituufu yabadde awabudde Pulezidenti Museveni nti ekiraamo kya Omukama Oyo kye kirina okugobererwa mu kulonda Omukama omupya kyokka yakizudde nti ekiraamo kya Oyo ekyali kyogerwako kirina ebintu bye kitaggyaayo.
Yategeezezza nti kati awagira enteekateeka zonna ez’okutuuza Omukama wa Tooro omuggya era n’akakasa nti byonna ebikolebwa tebirina webikontanira na mateeka.
Ku nsonga y’obutakkaanye obubaddewo wakati w’esiga eddamuzi n’ekibiina ekitwala bannamateeka nga bwaviirako ne Pulezidenti waakyo Isaac Ssemakadde okudduka mu ggwanga n’ategeeza, nti ng’ali mu kifo kya Ssaabawolereza wa Gavumenti, obutakkaanya buno ajja kukakasang’abumalawo.