Poliisi ekutte omukazi Recheal Nanyonga omutuuze w'e Kakondwe e Kassanda ku bigambibwa nti ya bye omwana omulenzi eyabadde yakazaalibwa.
Bibadde mu ddwaaliro lya Kassanda Health Center 4,Annet Namulirwa gye yazaalidde omwana omulenzi ng'ali ne bba Robert Ssekanwagi nti kyokka mu kusumagira ku kitanda kwe yabadde n'omujanjabi , Nanyonga naye eyabadde yefudde agenze okuzaala, n'abbawo omwana n'abulawo.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Recheal Kawala, agambye nti wakuvunaanibwa ogw'obubbi bw'omwana n'ekigendererwa eky'okusanyusa bba