OMU ku basajja abagambibwa okugezaako okulumba poliisi e Kasese, bamukubye amasasi agamusse n'abalala Bana ne bakwatibwa.

Kidiridde abazigu ab'ebijambiya abawera nga Mukaaga, okulumba poliisi y'e Ggombolola e Bugoye mu Kasese, n'ekigendererwa eky'okunyaga emmundu, kyokka abasirikale ne babalabuukirira ne bakubako omu amasasi agamusse, abalala bana nabo ne bakwatibwa.
Bibaddewo mu kiro ekikeesezza leero, era nga mu kiseera kino, poliisi ekyagenda mu maaso n'okuyigga abalala, ababadde mu bulumbaganyi buno.

Attiddwa, abadde tannategeerekeka bimukwatako kyokka ng'abana abakwatiddwa, ye Simon Irumba, Abson Kiiza, George Kadama ne Lenaxi Baluku era nga poliisi ezudde amajambiya agagambibwa okukozesebwa mu bulumbaganyi buno.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti omugenzi bw'akubiddwa amasasi mu kugulu, agezezzaako okudduka ne banne, kyokka oluvannyuma ne bamusanga ng'afudde