Abavubuka mukaaga abagambibwa okubbira ku bodaboda bakwattiddwa mu kikwekweto kya poliisi.
Bano kuliko; Bashir Kawooya, Shamiru Kiwo, Derrick Nuwamanya, abamu gwe bamanyi nga Akiram Mavako, Joseph Waibale, Ivan Kisongodde, ne Sadic Byanyina.

Sg 2
Okwatibwa kyadiridde okuteega Omunigeria nga June, 20,2026, ne bamukuba omwogoloza oluvannyuma ne bamubbako ssente obukadde 20, e Nsambya okumpi n'oluguudo oluyita ku kitebe ky'America.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire, ategeezezza nti bazudde ppiki ttaano ku ezo ezibadde zikozesebwa mu bubbi buno nga n'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Ezimu ku zo ye Bajaj Boxer namba UMA 349NF.
Poliisi egamba nti ekibinja kino okusinga kirondoola bantu bagenda oba okuva mu bbanka oba mu bizinensi zaabwe nga basitudde ssente eziwerako