Kigambibwa nti obutakkaanya n’abeekisinde kya PLU buva ku kaawefube gwe baliko ow’okukung’aanya emikono egisemba ssentebe waabwe, Gen. Muhoozi Kainerugaba, okwesimbawo ku bwa Puleziedenti mu 2031 ate Namyalo naye alemeddeko ng’agamba nti Museveni akomawo mu 2031.
Ekibinja kya PPG ekyaggyiddwa ku Namyalo kirimu abaserikale ba poliisi abalina obukugu obwenjawulo era abavunaanyizibwa okukuuma muk’omukulembeze w’eggwanga n’abakungu abalala abeetaaga obukuumi obwamaanyi.
Ekikyasembyeyo be bazzukulu abali wansi wa ofiisi ya ssentebe wa ONC e Bugisu okusinziira ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’ebyobulambuzi nga September 27, 2026 e Mbale ne balangirira nga bwe bagenda okuwagira Pulezidenti Museveni ku bwapulezidenti mu kulonda kwa 2031.

Ofiisi ya Ssentebe wa NRM esangibwa e Kyambogo nga bw’eri mu kiseera kino.
Eyayogedde ku lwa ONC, Chris Buyera, yagambye nti beetegefu okuddamu okulonda Museveni mu 2031 nga basinziira ku birungi by’akoledde abavubuka n’eggwanga. Omukolo gwabaddeko n’abawagizi abakutte ebipande ebiwagira Pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo mu 2031.
Ekirangiriro kya Buyera kyatabudde abawagizi ba PLU abali mu kaweefube w’okukung’aanya emikono mu ggwanga lyonna egiwagira Gen. Muhoozi okwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2031.
PLU ERABUDDE NAMYALOSsaabawandiisi wa PLU, Fadil Twalla, yawandiikidde Namyalo ekiwandiiko n’amulabula abeeko w’akoma kuba aludde ng’ayogera ebintu ebitakwatagana na bigendererwa byabwe ne bamussa akasiiso.
Yagambye nti mu nkola ya PLU bulijjo bawa ekitiibwa okulung’amizibwa kw’ekibiina kya NRM awamu n’okuwabulwa kwa Gen. Muhoozi eyabalagira bakolagane ne NRM.
Eno y’ensonga lwaki mu kulonda okuwedde, ekitebe kya NRM ne PLU baakolera wamu mu kuwagira Yoweri Museveni ku bwapulezidenti n’aba NRM ku mitendera gyonna okutuukira ddala wansi ku L.C 1.
Twalla yagambye nti wadde nga Namyalo azze abasosonkereza nga lwe yali e Ngoma mu disitulikiti y’e Kyankwanzi, baasalawo okumusiriikirira ku lw’obumu nga bamwoyo-gwa-ggwanga abakkiririza mu bukulembeze bwa Pulezidenti Museveni.
“Bw’oba obadde tokimanyi, enkolagana yaffe ne NRM eya TukoPamoja yaganyula NRM mu kulonda okuwedde, ng’okulonda kwa 2031 gwe mukisa gwa PLU. Ssentebe waffe yatulagira nti byonna bye tuluubirira tujja kubituukako nga tuyita mu NRM era nga PLU kikyali kisinde era tekinnakyuka,” Twalla bwe yagambye.
Yakikkaatirizza nti Gen. Muhoozi era ssentebe wa PLU ajja kwesimbawo mu 2031 era nga Pulezidenti Museveni y’ajja okukulira okumunoonyeza obululu.
Namyalo yasabiddwa akomye okwogera ebigambo ebibasosonkereza, yeewale n’okutabula Bannayuganda ng’alangirira ebintu ebitakwatagana.
KABANDA ALWEYUNZEEMUAkulira ofiisi ya ssentebe wa PLU, David Kabanda naye olutalo yalwegasseemu bwe yatadde obubaka ku mukutu gwa X (eyali twitter) n’alabula Namyalo akomye okubasosonkereza mu bwangu ddala.
“Kye mulina okumanya, kontulakiti y’omukyala oyo yaggwaako dda era ofiisi eyo agibaddemu mu bumenyi bw’amateeka.” bwe yagambye.
NAMYALO AKYAYOGEZA BUGUMUHajjati Namyalo teyafunise olw’okuba ennamba ze ez’essimu ezimanyiddwa zaabadde teziriiko. Kyokka gye buvuddeko bwe yali e Kaaliiti mu disitulikiti y’e Wakiso nga September 24, 2026 yakakasa abantu nga Pulezidenti Museveni bw’agenda okwesimbawo ne mu 2031.
Yategeezezza nti Pulezidenti yennyini yamutegeeza nti mu kiseera kino nga eggwanga lyakamala okufuna amafuta, akyalina okukola entegeka Bannayuganda bagaganyulwemu.
Akulira amawulire agafulumira ku mitimbagano mu ofiisi ya ONC, Hakim Kyeswa, yagambye nti Hajati Namyalo mu kiseera kino aliko emirimu egimukutte egitamuganya kwogera na baamawulire, wabula n’akakas anti ofiisi yaaabwe ekyakola era olukoba bakyalusibidde ku Pulezidenti Museveni mu kalulu ka 2031, okuggyako ng’abagambye nti si waakwesimbawo, era n’abalagira okuwagira Gen. Muhoozi.
Kyeswa yagambye nti kituufu abakuumi ba PPG ababadde bakuuma Namyalo ne ofiisi z’ekibiina baatwaliddwa naye nga tebaategedde yawadde biragiro.
AKASIRISE E KYAMBOGOEmbeera ku ofiisi ya ONC e Kyambogo ya kasirise nnyo nga we twatuukiddewo nga tewali mulimu gwonna gulabika gugenda mu maaso nga n’ekikomera kiggale.
Abatuuze abaliraanye ekifo kino baategeezezza nga ofiisi eno bw’erudde mu kitundu ebbanga eriweza emyaka 10 era bulijjo abantu beesomba nga bayingira.
Nti kyokka ennaku zino ekifo kisirifu tewakyali muntu abeerawo.