ABAYIZI ba yunivasite basatu bafudde ne baleka bazadde baabwe mu kiyongobero.
Abafudde babadde bayizi mu yunivasite y'e Makerere, eya Kyambogo n'eya Mbarara ng'ababiri baafudde mu ngeri eriko ebibuuzo ate owookusatu yagudde ku kabenje ka bodaboda akamuttiddewo!
Charles Kevin Kabuye abadde asoma okukuba pulaani ng'abadde mu mwaka ogwokubiri ku yunivasite e Makerere, yasangiddwa ku Mmande ku makya ng'attiddwa mu ngeri etaategeerekese era bayizi banne abaabadde bakedde okugenda okusoma be baamuguddeko. Omulambo gwe gwasangiddwa mu lukomera olwassibwa ku mulongooti gw’essimu oguli mu yunivasite eno.
Kabuye yaziikiddwa eggulo ku kyalo Nabwiri Busujju mu disitulikiti y'e Mityana.
Abamu ku bayizi abataayagadde kubaatuukiriza mannya gaabwe baategeezezza Bukedde nti, omugenzi gw’abadde asula naye yabategeezezza nga Kabuye bwe yakedde ennyo ku Mmande okuva mu kisenge mwe basula nga tewali kintu kyonna ky'agenze nakyo wadde essimu.

Kabuye ne Ainembabazi
Omuyizi omulala gwe twasanze ku kisulo kya Nkrumah, Kabuye mw’abadde asula yategeezezza nti, bwe yabadde akedde okugenda mu kibiina, kwe kulaba omuntu mu lukomera olwassibwa ku mulongooti n'alowooza mulalu kyokka yategedde luvannyuma nti munnaabwe attiddwa. Abamu ku bayizi Kabuye b'abadde asoma nabo baategeezezza nti baagala wabeewo okunoonyereza ku nfa ye.
OWA KYAMBOGO NAYE AFUDDEKu makya ga Mmande, Precious Musimenta 26, omuyizi ku yunivasite e Kyambogo yasangiddwa ng'afiiridde mu kisulo kya Sports Pro-Hostel e Banda mw'abadde asula.Akulira embeera z’abayizi ku yunivasite eno, Agnes Nakimuli yategeezezza nga Musimenta bw’abadde yakwasibwa North Hall ng'abadde akola diguli mu kubala ebitabo.
OW'E MBARARA AFUDDE MU KABENJEAnitah Ainembabazi Kaitesi abadde asoma mwaka gusooka ng'akola diguli mu nzirukanya ya bizinensi ku yunivasite y'e Mbarara, yafudde oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje. Yabadde ku bodaboda ku luguudo oluva e Isingiro okudda e Mbarara gye yabadde ava okuziika.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yategeezezza nga poliisi bw'ekyanoonyereza ekituufu ku kufa kw’abayizi ababiri okuli ow'e Makerere n'ow'e Kyambogo.