OBUJULIZI obuzze mu musango gw’ebyokulonda munna NUP, Alex Waiswa Mufumbiro gwe yawaabira omubaka wa Nakawa East, Fred Ruhindi, bucamudde abawagizi ba Mufumbiro, ate ne busattiza oludda lwa Ruhindi.
Kkooti bwe yabadde ewuliriza obujulizi okuva mu bantu bonna abakwatibwako omusango guno, akulira ebyokulonda mu Kampala, Rashid Hasakya, yakkirizza nti waliwo ebifo 22 ebyalonda naye ate ebyava mu kulonda mu bitundu bino ne bitagattibwa ku bululu obwabalwa. Okwogera bino, Hasakya yabadde addamu ebibuuzo okuva ewa munnamateeka wa Mufumbiro, Badru Sserunkuuma, mu kkooti y’omulamuzi Allan Nshimye.
Mufumbiro yatwala omusango mu kkooti, oluvannyuma lw’akakiiko k’ebyokulonda okulangirira Fred Ruhindi ku buwanguzi bw’ekifo ky’omubaka wa Nakawa East. Okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda, Ruhindi yawangula n’obululu 18,575, ate Mufumbiro n’amuddirira n’obululu 15,067.
EMPAABA YA MUFUMBIRO
Mufumbiro avunaana akakiiko k’ebyokulonda olw’okulemwa okugatta ebyava mu kulonda mu bifo ebiwera 22, ate ng’okulonda kwaliyo. Mu bifo bino kuliko, Kiswa Health Centre, Community Center, Kiswa Primary School, Kisenyi III, Agatti’s Place, St. Matia Mulumba, n’awalala. Olw’embeera eno, Mufumbiro agamba nti obululu 12,250 obw'abalonzi mu bitundu bino tebwabalibwa, ate nga bwali bukyusa kinene nnyo ku byava mu kulonda.
Mufumbiro era alumiriza akakiiko k’ebyokulonda okuduumuula omuwendo gw’obululu mu bitundu ebimu, ne businga abalonzi abaalonda ku lunaku olwo.
EBYABADDE MU KKOOTI
Muganda wa Waiswa Mufumbiro, Keneth Kato ye yasoose okuyingira akaguli n’awa obujulizi ku bye yalaba ebitaatambula bulungi mu kalulu kano, ke yalimu ng’akiikiridde muganda we ali mu kkomera.
Kato yagambye nti, bwe baagenda mu muluka gwa Luzira Prisons baasooka kubagaana kuyingira, okusobola okumanya engeri okulonda gye kwali kukwatiddwaamu. Ono yagambye nti, waliwo ebitundu obululu gye bwasinga abalonzi obungi, n’ebitundu ebitaabalibwa.
Omu ku bannamateeka ba Ruhindi, Nasser Sserunjogi yamubuuzizza oba yalaba ku bululu obwali bugoloddwa nga bwe yalayira mu bujulizi bwe, Kato yagambye nga bw'ataakirabako wabula yagambibwa bugambibwa.
Ono olwamaze, Hasakya naye n’ayingirawo era n'akkiriza nti ddala waliwo ebifo 22 ebitaabalibwa, naye nga okulonda kwaliyo, kyokka n’agamba nti ye baamuwa buwi mpapula ziriko miwendo gya bululu bubaliddwa era ze yagatta n’alangirira. Omulamuzi yataddewo nga October 30,2026, lw'agenda okuwa ensala ye.
OGWA SSENYONYI GWAWULIDDWA
Omulamuzi Nshimye era yawulidde n’omusango Ivan Bwowe gwe yawaabira Joel Ssenyonyi n'akakiiko k'ebyokulonda, ng’agamba nti ekifo kya Nakawa West mwe baalondera Ssenyonyi kyali kikyamu era tekiriiyo, ng'ekifo ekituufu ekiri mu biwandiiko bya Gavumenti ye Nakawa Division West era ye Bwowe kye yeewandiisizaamu ng’asaba kkooti emulangirire ku buwanguzi.
Omulamuzi yataddewo olwa October 30, okuwa ensala ye.
MBARARA
Kkooti yataddewo olwa nga October 24, 2026 okuwa ensala mu gwa Julius Tumuhimbise gwe yawaabira Omubaka Nathan Byanyima (Bukanga North), ng’amulumiriza okukola effujjo mu kalulu omwali n’okutiisatiisa abalonzi.
Emisango emirala egyawaabwa mu Mbarara nagyo girinze nsala, nga gyonna gisuubirwa okusalibwa obutasukka November.
NAMUJJU NE NKONGE BAKYATTUNKA
Omubaka omukazi ow’e Lwengo, Cissy Namujju, attunka ne Dr. Sarah Nkonge, eyamuwaabira ng’amulumiriza okugulirira abalonzi. Omusango gwazzeemu enkalu, oluvannyuma lwa Namujju okukalambira nti empapula ezimuwaabira tebaazimuwa mu budde, ng’ayagala omusango gugobwe. Oludda lwa Nkonge lugamba lwazimuwa mu budde nga baazimusindikira ku mukutu gwa WhatsApp.
Omulamuzi yataddewo olwa November 14, 2026, okusalawo oba Namujju empapula ezimuwaabira baazimuwa mu budde