Amawulire

Bannamakolero balaajanye ku bufunda bw'ekifo kya UMA

BANNAMAKOLERO baagala gavumenti erowooze ku ky’okubafunira ekifo ekirala webategekera omwoleso olw’omuwendo gw'aboolesa ogweyongera buli mwaka.

Sanjay Tanna ng'alambula bannamakolero
By: Nsimbi Ponsiano, Journalist @New Vision

BANNAMAKOLERO baagala gavumenti erowooze ku ky’okubafunira ekifo ekirala webategekera omwoleso olw’omuwendo gw'aboolesa ogweyongera buli mwaka.

Bino byayogedde akulira ekibangirizi kya bannamakolero Dr.Ezra Muhumuza  ku mukolo ogw’okuggulawo omwoleso gw’omulundi ogwa 32 mu kibangirizi kya bannamakolero e  Lugogo.

Sanjay Tanna ng'alambula eby'amaguzi ebireeteddwa mu mwoleso

Sanjay Tanna ng'alambula eby'amaguzi ebireeteddwa mu mwoleso

Dr.Muhumuza agambye nti gavumenti efubye okuteekawo ebibangirizi bya bannamakolero ekivuddeko amakolero okweyongera kyokka kyo ekibangirizi mwe bategekera omwoleso tekyeyongeddeko ng’ekiseera kituuse erowooze ku ky’okubafunira ekifo ekirala.

Ono era ayagala gavumenti erowooze ku ky’okuteeka omwoleso guno mu mbalirira y’eggwanga kubanga mu kiseera kino bannamakolero basasula ssente nyingi okufuna ebifo ate nga basinga bakyezimba.

Ye akulira olukiiko olufuzi olw’ekibiina ekigatta bannamakolero mu ggwanga ekya Uganada Manafuctaurer’s Association (UMA) Aga Ssekalala Jr. yalaze engeri omwoleso guno gye guze gweyubulamu emyaka 32 egiyise Uganda okukula mu byamakolero nga kino kyeyolekera mu muwendo gw’abannamakolero abetanira omwoleso guno abeyongera buli lukya.

Yagambye nti omwaka guno bafunye bannamakolero abasobye mu 1000 abakozesa ebintu ebiva wano n'asaba ebitongole bya gavumenti okuwagira bannamakolero nga bagula ebintu byabwe mu kifo ky’okubitumya mu mawanga amalala.

Omwoleso guguddwawo minisita w’ebyobusuubuzi, amakolero n’ebiina by'obwegassi Sanjay Tanna ng’ono ye yakikiridde Pulezidenti Museveni.

Museveni asabye bannayuganda okwetanira enkola ey’okwongera omutindo ku bintu bye bakola okusobola okuvuganya ku katale k’ensi yonna.

Sanjay Tanna ng'akwasa bannamakolero ebirabo

Sanjay Tanna ng'akwasa bannamakolero ebirabo

Era natendereza omutindo gwe byamakolero ogwongedde okulinnya n'asaba bannamakolero okukozesa embeera y’’ebyobufuzi, embeera y’obudde , enguudo n’amasannyalaze okutumbula bye bakola.

Agambye nti Uganda erina ebintu bingi eby’etunzi ebyetaaga okwongerako obuyiiya n’omutindo okusobola okuvuganya ku katle k’ensi yonna n’okutumbula eby’enfuna by’eggwanga.

Yayongeddeko  nti eby’obusuubuzi n’amakolero byankizo nnyo eri eby’enfuna by’eggwanga nga y’ensonga lwaki gavumenti ekola buli kisoboka okubangula abavubuka n’okuteekawo enteekateeka ebasoboozesa okukola emirimu gyabwe.

Ye minisita Sanjay agamba nti gavumenti etaddewo buli kyetaagisa bannamakolero okukola obulungi emirimu gyabwe.

Ono nga tanaggulawo mwoleso asoose kulambula boolesi ab’enjawulo n'atendereza omutindo ogweyodde.

Bannamakolero ab’enjawulo banywedde mu bannaabwe akendo baweereddwa engule ezibasiima nga kuno kw’abaddeko aba Mesha Steel Ltd abakola obutimba, Steela &Tubes, Engineering Developmeny &Innovation Centre n’abalala nga Movit yenwedde mu boolesi bonna akendo,

Omwogezi w’ekibinna ekigatta bannamakolero Regina Namuwonge ategeezezza nti ku mulundi guno bafunye aboolesi abasoba mu 1000, ng’ebintu byabwe byonna bisaliddwako ebbeeyi n’akunga abantu okujjumbira omwoleso guno.

Agambye nti ku mulundi guno bataddewo enteekateeka y’okutuusa obuweereza obw’enjawulo obwobwerera ku bantu mu by’enjigiriza, eby’obulamu, eby’obusuubuzi n’ebirala.

Omwoleso guno gwetabiddwamu bannamakolero okuva mu ggwanga n’amawanga amalala.

 

 

Tags: