Amawulire

Omukulu w'ekika ky'Endiga Omutaka Lwomwa Eria Buzaabo Lwasi yeebazizza Kabaka olw'okuwa abavubuka be emirimu

OMUKULU w'ekika ky'Endiga Omutaka Lwomwa Eria Buzaabo Lwasi yeebazizza Ssabasajja Kabaka n'obukulembeze bw' Obwakabaka  olwokulengera bazzukulu be ne baweebwa obuweereza mu bavubuka.   

OMUKULU w'ekika ky'Endiga Omutaka Lwomwa Eria Buzaabo Lwasi ng'ayogera
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

OMUKULU w'ekika ky'Endiga Omutaka Lwomwa Eria Buzaabo Lwasi yeebazizza Ssabasajja Kabaka n'obukulembeze bw' Obwakabaka e Mmengo olwokulengera bazzukulu be ne baweebwa obuweereza mu bavubuka.

Okwogera bino yasinzidde mu Lukiiko lw'ekika kino olutudde ku ofiisi zaakyo ezisangibwa e Mmengo okuliraana ennyanja ya Kabaka nga muno mwayanjuliddwa muzzukkulu Racheal Nalujja ng'ono yawangula ekifo ky'Obwassentebe bw'ekibiina kya Nkobazambogo mu Uganda ng'abadde wamu ne Nasif Kulumba ng'ono yakwasibwa obuvunanyizibwa bw'okukikkirira abavubuka mu bika ku lukiiko Ttabamiruka olw'abavubuka mu Buganda (Buganda Youth Council) era neyeyama okubawagira.

Dr Rashid Lukwago ng'ayogera

Dr Rashid Lukwago ng'ayogera

Omutaka Lwomwa Lwasi yasabye bazzukkulu be okwenyigira mu nteekateeka z'enkulakulana ezireetebwa mu kika kigende mu maaso ate n'okutumbula obumu.

Olukiiko luno lutambulidde wansi w'omulamwa ogugamba nti" Obumu mu bavubuka gwe musingi gw'enkulakulana n'Ebiseera eby'omu maaso"

Omwogezi ow'enjawulo mu lukiiko luno olukubiriziddwa Omukubiriza waalwo, John Ssebwato, yabadde Dr. Rashid Lukwago, omukiise w'abavubuka ba Nkobazambogo mu Lukiiko lwa Buganda olukulu era Ssentebe w'olukiiko olulungamya ebibiina by'abavubuka mu Bwakabaka.

Dr. Lukwago yasabye abavubuka okwolesanga empisa mu buweereza bwebabeera baweereddwa, okweteerawo amateeka kwe batambulira obulamu ate n'okukomya omuze gw'okwekubako enjawulo wabula betanire okugenda mu bifo eby'enjawulo okuzuula emikisa lwebajja okubeera n'ebiseera by'omu maaso ebitangaavu.

Ab'ekika ky'Endiga nga bali mu lukiiko

Ab'ekika ky'Endiga nga bali mu lukiiko

Katikkiro w'ekika kino eky'endiga, Christopher Kalyesubula yategeezzeezza ng'ekiseera kino ekika bwekiri mu kwetegekera okukola Nnamutayiika omuggya anatambuza ekika okuva mu 2027 okugenda mu maaso kubanga ono kwekitambulira owa 2023-2027 anatera okuggwaako.

Ssentebe w'abavubuka mu Buganda, Derrick Kavuma yasabye abazadde okwagazisanga abaana ebikwata ku bika nga buli lwebajja mu nkiiko nga zino nga bayita nabo, basobole okubimanya era naawera okugenda mu maaso okuyigiriza bavubuka bannaabwe ebikwa ku bika.

Nalujja nga ye Ssentebe wa Nkobazambogo omuwala ow'okubiri okukulembera ekibiina kino bukya kitandikibwawo, yeebazizza bazzukkulu banne mu kika ky'endiga olw'okumuwagira mu lugendo olwamutuusa ku bukulu bwalimu kati.

Tags: