OKUWULIRA omusango gw'omusamize ne banne abagambibwa okusaddaaka abaana 2 e Ssembabule kutandise mu kkooti enkulu e Masaka.
Omusamize Hassan Nalukoola ne banne okuli Ahmed Musasi, Elly Tumwebaze, Zubair Matovu bebavunaanibwa omusango gw'okutta abaana 2 okuli Andrew Jjunju ow'emyaka 6 nga Ono yali muyizi ku ssomero lya St.Herman Kasaana ne munne Julius Asiimwe ow'emyaka 2 gyokka mu nkola eyasadaaka mu mwaka gwa 2024.

Omusamize Hassan Nalukoola ku ddyo ne banne bwebavunanibwa omusango gw'okutta abaana 2 e Ssembabule mu nkola eyasadaaka.
Omulamuzi wa Kkooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu era nga olunaku olwa leero omuserikale Muhammad Isabirye yasoose okuwa obujulizi ku massimu agakubwanga wamu n'okwewereza ssente mu bano abavunanibwa.

Omuserikale eyakola okuva mu kitongole kya CMI ng'awa obujjulizi ku bavunanwa
Okuwulira obujulizi mu musango guno kukyagenda mu maaso.