Bya Jacinta Bwanika
Gavumenti ya Uganda ng,eri wamu n'aba United Nations Development Programme nga bali wamu n'eggwanga lya Italy batongozza okuzimba eddongoosezo lya Kasasiro ely'omulembe mu kibuga Masaka.
Eddongoosezo lino erigenda okuzimbibwa e Bulando mu kibuga Masaka lya kuwemmenta obuwumbi bw'ensimbi za kuno 32. Ng'oggyeeko okuzimba ,kuliko okugula ebipipa bya Kasasiro 24.000, ebimotoka bya Kasasiro bitaano (5) kko n'okusomesa abatuuze ku ngeri y'okwawulamu kasasiro mu maka gaabwe.

Ekifo webagenda okusengejjera Kasasiro e Masaka
Kasasiro ono wakusunsulwamu olwo akolebwemu ebigimusa,Pulasitika kko n'obujjo (Pavers) ate ng'ekifo kye kimu kya kunganyizaamu ne kasasiro ava malwaliro.
Meeya we kibuga Masaka Florence Namayanja ategeezezza nti Kasasiro abadde afuuse kizibu naddala bwegutuuka ku kukuuma obutonde bwensi n'ategeeza nti kino buwanguzi bwenyini.