BAMBEGA babiri bawuniikiridde, kkooti y’amagye bwe battottodde engeri gye baakola pulaani z’okutega bbomu mu Kampala ne baloopa abanene abaali mu ddiiru eno eyafiiramu abantu abatalina musango.
Hamza Lyavaala ne Adiil Walusansa, abaali bambega ba gavumenti nga bakolagana butereevu n’abanene mu kitongole ky’amagye ekikessi, baalaze bwe baaluka olukwe okutega bbomu e Munyonyo ku kiggwa ky’Abajulizi ne ku katale ka Kaleerwe omwafiira abantu abasatu, amagye be gaayita abatujju so nga baali bassaalumanya!.
ENGERI GYE BAALUKA DDIIRU
Nanzaala yabuulidde kkooti nti, Lt. Col. Byaruhanga yasisinkana Lwavaala ne Walusansa mu wooteeri ya Goers e Namulanda ku luguudo lw’e Ntebe n’abategeeza ku pulaani gye yalina n’engeri gye baali bajja okugiggusaamu olwo n’abalagira bafune omukazi anaakola omulimu olwo era n’awa Walusansa ssente apangise ennyumba e Kinaawa – Nateete.
Oluvannyuma, baafuna omukazi Sumaya Byaruhanga okuva e Busoga era ne bakkiriziganya nti, ddiiru esooka yaakubaawo ku lunaku lw’Abajulizi nti, Lt. Col. Byaruhanga yali agenda kubuulira Gen. Otto ku butujju buno olwo ku lunaku lwennyini era Lyavaala ne Walusansa ne bategeeza abeebyokwerinda bonna nti, waliwo obutujju bwe baali bategeddeko nga bali bulindaala okufufuggaza abatujju abo era bwe kyali.
Omukazi, Byaruhanga olwo baamulagira n’asimbula okuva e Kinaawa n’ayolekera ne bbomu okuyita ku lutindo olw’oku kiggwa e Munyonyo bbomu we yabwatukira n’afiirawo.
Nga wayise wiiki emu, Lt. Col. Byaruhanga era yaddamu okuluka olukwe olulala era ne bafuna omusajja Kasimu yeetulisizeeko bbomu ng’ono ye yaleeta Sawiya Azatu eyattibwa ku Kaleerwe.
Okusinziira ku ludda oluwaabi byonna byakolebwanga nga Lt. Col. Byaruhanga amanyi bulungi ekigenda mu maaso, era nga June 21, 2025 Lyavaala yaweebwa bbomu bbiri emu ne bamulagira agiwe Sawiya ate endala n’agiwa Kassimu.
Olwo Lyavaala yalagira Sawiya eyali ava e Kinaawa nti, bw’atuuka e Busega afune boda boda endala emutwale ku Kaleerwe era omuwala yagenda okutuuka ku Kaleerwe ng’abakambwe aba JAAT baasazeeko dda okukwata Sayiwa nga tannatulisa bbomu. Olwatuuka e Busega Lyavaala n’ategeeza aba JAAT ne balondoola omuwala era baamukuba amasasi ng’atuuka ku Kaleerwe n’afiirawo bbomu gye yali abagalidde ne bagibwatula olwo poliisi n’esalako ekifo kyonna ng’awazziddwa omusango.
Abasajja bano bavunaanibwa okutta abantu babiri abaali batalina musango ng’ogusooka gwa kutta Sumaya Byaruhanga ate omulala gw’akutta Sawiya Azatu.
Nanzaala bw’atyo yasabye kkooti abasajja bano ebawe ekibonerezo ekikakali, wabula munnamateeka waabwe Maj. Simon Busagwa yategeezezza nti, bakyali bato era bakyasobola okukyusa enneeyisa yaabwe ng’ate balina abakyala n’abaana be balabirira.
Ebyaleeteddwa mu kkooti biraga nti, bbomu zonna Byaruhanga yazitega ng’ayagala bakama be okuli Brig. Gen. Rugumayo ne Maj. Gen. Otto bagambe nti, akola nnyo olwo bamwongere ssente mu kunyweza ebyokwerinda era batandike okukola naye.
Kkooti egenda kubasalira nga October 12, 2026 era ebaleete ng’abajulizi okulumiriza Lt. Col. Byaruhanga.
Ensonga za bbomu ezo zaaviirako okukwatibwa kwa Gen. James Birungi eyali akulira CMI mu kiseera ekyo era avunaanibwa emisango gy’okulya mu nsi olukwe ssaako okutaataaganya ebyokwerinda by’eggwanga era naye waakuzzibwa mu kkooti nga October 12, 2026 oludda oluwaabi lwe lusuubira okuleeta abajulizi. Akuumirwa mu kkomera lya Millitary Police e Makindye