OFIISI evunaanyizibwa ku by’ettaka mu maka g’Obwapulezidenti eyingidde mu nkaayana z’ettaka wakati w’omuyimbi Sophie Nantongo n’abamu ku ffamire ye ku bukojja bwe.
Ettaka erikaayanirwa liweza kumpi yiika nnamba nga lisangibwa Kawempe Tuula mu ggombolola ya Kawempe mu Kampala era liriko n’ekiggya n’ennyumba bbiri.
Nantongo ng’ali ne bannyina babiri: Edward Sekitooleko ne Isma Bisegerwa attunka ne kizibwe we, Esther Nassali muwala wa kojjaabwe Anthony Sentongo eyafa mu 1977.
Ensonga z’amannya ga ffamire ya Nantongo n’ag’ebukojja okuba nga gonna ga muziro gwa Nkima kyatabudde abaakakiiko wabula ne basalawo ensonga eyo bagisse ku bbali.
Nassali yaloopye mu ofiisi ekola ku by’ettaka mu maka g’Obwapulezidenti ekulirwa Annet Kabahuma abaatuuzizza olukiiko ku ttaka lino e Kawempe Tuula olwakubiriziddwa Kabahuma nga lwetabiddwaamu amyuka RCC wa Kawempe, Luuka Kagenyi na bakulembeze ba LC mu kitundu.
Nassali alumiriza Nantongo ne banne okumugoba mu maka ga jjajja waabwe azaala kitaawe, Misuseera
Kafeero. Yayongeddeko nti buli kiseera Nantongo abeera aduumira bannyina ne babakolako effujjo nga babakuba ne babaggulako emisango ku poliisi kyokka tebabandaalayo ne babata.
Yayongeddeko nti tebabakkiriza kulinnya waka wano webakulidde nga talina w’asula kyokka ng’alinako ennyumba gye yeezimbira.
Nassali yategeezezza nti jjajjaawe Misuseera Kafeero yazaala abaana 3 okwali omulenzi omu Anthony Sentongo, Christine Namuddu ne Sarah Namuli. Kitaawe Sentongo yafiira mu lutalo mu 1977 ne bamuziika mu bitundu by’e Nabweru.
Namuli nga ye maama wa Nantongo yafa mu 1998 era yaziikibwa ku ttaka lino.
Nassali agamba ssengaabwe Namuddu ne jjajjaabwe Kafeero be baabakuza ne mwannyina Steven Sekitoleko.
Ssengaabwe, Namuddu yafa mu 2008 ne bamuziika ku ttaka lino.
Nantongo alumiriza Nassali okutunda ku ttaka lino nannyonnyola nti ye ( Nantongo) yasalawo ne bannyina okuyingira ku nsonga kubanga ettaka lyabwe lyali lyolekedde okugendera mu kavuyo.
Yagambye nti balina enteekateeka okugenda mu kkooti okugisaba Nnasali akeberwe omusaayi okukakasa oba ddala wa famire.
Kabahuma yabawadde wiiki emu okulaba nga Walusimbi ava mu nnyumba eno ekaayanirwa okutuusa nga bakkaanyizza.
Ssentebe wa LC II mu kitundu kino, Nsubuga Ndiwalana yagambye nti ensonga zino abadde yaakazimanya wabula bagenda kufuba okulaba nga bazigonjoola buli omu afune obwenkanya