Amawulire

Ennaku 100 ezaaweebwa abavuga mmotoka ziganyegenya zinaatera okuggwaako - Poliisi

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, ategeezezza nti nnyingi ku mmotoka zino, ezaali zaakwatibwa, zaaddizibwa bannyini zo okuziddaabiriza nti n'oluvannyuma baddemu bazeekebejje nga tezinnazzibwa ku nguudo , naye abasinga bazivuga ky'agambye nti kikyamu.

Ennaku 100 ezaaweebwa abavuga mmotoka ziganyegenya zinaatera okuggwaako - Poliisi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI y'ebidduka, erabudde abavuzi ne bannannyini mmotoka ziganyegenya, nti ebbanga ery'ennaku 100 ezaaweebwa ku bikwekweto by'okuddaabiriza emmotoka zino, zigenderera era poliisi ne yeewera nga bwe baddamu okuzifuuza mu wiiki eno.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, ategeezezza nti nnyingi ku mmotoka zino, ezaali zaakwatibwa, zaaddizibwa bannyini zo okuziddaabiriza nti n'oluvannyuma baddemu bazeekebejje nga tezinnazzibwa ku nguudo , naye abasinga bazivuga ky'agambye nti kikyamu.

Mu kusooka era Kananura alabudde ab'ebimotoka ebinene, (Sino trucks) ku bbanga  ery'ennaku 60 eryabaweebwa okwekebejjeramu emmotoka zaabwe bafune satifikeeti,  nti liggwaako nga Oct 16 era n'abasaba okugenda mu bifo ebyassibwawo okuli Kawanda, Nabbingo, Nnamulanda ne Namanve bazeekebejje, nga tebannakwatibwa.

Annyonnyodde nga bwe waliwo ebikwekweto bye baakoze ku Northern by Pass mu Kampala, ne bayoola emmotoka za ttakisi 47 ezitikkira mu bifo ebitakkirizibwa nga baddereeva 12  basimbiddwa mu kkooti , 7 ne baweebwa bondi ate 28 badduse era babayigga.

Mu ngeri y'emu era mu wiiki ewedde, baddereeva 26 baakwatiddwa lwa kuvuga mmotoka okuli obugombe n'obutaala , nga tebakkiriziddwa .

Tags: