Amawulire

Abatuuze b'oku kyalo Bulaga B beegugunze lwa kulonda kwongezebwayo ku biragiro bya kkooti!

Olunaku olw'eggulo abatuuze b'e Bulaga B baasuze beesunga kuddamu kulonda ssentebe waabwe nga bwe kyalangirirwa akakiiko k’ebyokulonda, oluvannyuma lw’okulonda okwasooka okugwa obutaka ne wataba alangirirwa ku buwanguzi.

Abatuuze b'oku kyalo Bulaga B beegugunze lwa kulonda kwongezebwayo ku biragiro bya kkooti!
By: Abdul Muwonge, Journalist @New Vision

Olunaku olw'eggulo abatuuze b'e Bulaga B baasuze beesunga kuddamu kulonda ssentebe waabwe nga bwe kyalangirirwa akakiiko k’ebyokulonda, oluvannyuma lw’okulonda okwasooka okugwa obutaka ne wataba alangirirwa ku buwanguzi.

DPC ng'agezaako okukkakkanya abantu

DPC ng'agezaako okukkakkanya abantu

Embiranye yali wakati wakati wa Ssentongo Charles ne munna NRM Bugembe Vincent. Bano baabukeerezza nkokola okugenda mu kifo awalonderwa basobole okwetaba mu kulonda kwenvuunula bibya,  wabula kibabuuseeko bwe bategeezeddwa nti waliwo ekiragiro kya kkooti ekyaweerezeddwa nga kiyimiriza okulonda kuno, oluvannyuma lwa Bugembe okwekubira enduulu mu kooti ng’awakanya enteekateeka eno.

 

Abamu ku batuuze abaawanise ebipande ebiriko obutali bumativu bw'okulonda okwongozebwayo.

Abamu ku batuuze abaawanise ebipande ebiriko obutali bumativu bw'okulonda okwongozebwayo.

Bino olugudde mu matu ga batuuze batandise okwegugunga nga beebuuza kiki Bugembe ky’abaagaza, era ne bawera nti kikafuuwe Bugembe okubakulembera, nga buli omu alabiddwako ng’aggyayo endagamuntu ye  yeewandiise basobole okwelondera ssentebe waabwe.

 

Wabula wakati nga bino bigenda mu maaso abeebyokwerinda batuuse ne babategeeza nga bwe watali kulonda, nga babategeezezza nti era abakugu bakyekenneenya ensonga zaabwe,  abatuuze kye baawakanyizza era ne bawera nti ka gwake oba ettonye balina okulonda ssentebe waabwe.

 

Ssentongo Charles ategeezezza nti olunaku lw’eggulo ku saaawa nga 6:00 ez’omu ttuntu,  abaakakiiko k’ebyokulonda baamukubidde essimu neb amutegeeza nga bwe bali mu nteekateeka z’okutegeka okulonda okubadde kulina okubaayo leero, wabula nga zikunukkiriza okuwera essaawa 1:30 eyaakawungeezi, yafunye ebbaluwa ebategeeza nti okulonda kwongezeddwayo okutuusa nga 27 omwezi guno.

 

Kino kiggye abatuuze mu mbeera ne bakwata ebipande ebibanja omuwanguzi bwabwe, nga batambudde okuva e Nabuzinga nga boolekera mu tawuni y’e Bulaga, kyokka babadde tebannatuuka, poliisi ebadde ekulembeddwa DPC w’e Wakiso Esther Kiiza , ebasazeeko n’ebaggyako ebipande n’ebalagira okudda gye bava.

 

 

DPC agezezzaako okubawooyawooya ng’abategeeza nti ensonga zaabwe zikolebwako, era n’abasuubiza nti baakubategeeza ddi okulonda lwe kunaabaayo, wabula bino byonna bibayise ku mutwe nga nviiri ne batandika okuwaanyisiganya ne poliisi bisongovu,  kwossa okuleekanira wagulu nga bagamba nti baagala Bugembe abaviire ku kyalo kyabwe.

Tags:
Bulaga
Kulonda
Kwegunga