SIPIIKA wa palamenti, Jacob Oboth Oboth alagidde gavumenti okuyimirizaamu okussa mu nkola ekiragiro ku kuwera okufumbisa amanda, okutuusa ku Lwokusatu lwa wiiki ejja nga gavumenti ereese lipooti ku kiragiro kino.
Bw’abadde ayogera kunsonga eziruma eggwanga, Ssenyonyi agambye nti bannayuganda bangi tebasobola kusasula sente za mafuta g’okufumbisa, n’enkola endala nga amasannyalaze ne ggaasi.
Yagambye nti mu lipooti ya poliisi gye yasomye ku Monday wiiki eno, yalaze nga baakakwata ebisawo bya manda 275, n'abantu 2 ne baggalirwa mu bitundu bya Amuru ne Pakwatch.
Yategeezezza nti akkaanya ne gavumenti okukuuma obutonde bw’ensi naye tetaddeewo nkola ndala abantu ze bayinza okweyambisa nga tebannabakwata.
Yagambye nti ne palamenti yennyini ekozesa amanda okufumba emmere ababaka gye balya buli lunaku era nga galeetebwa mu budde bw’ekiro ne ku wiikendi.
Minisita omubeezi ow’amasannyalaze n'obugagga obw'ensibo Phiona Nyamutoro mu kwanukula yakkirizza nti gavumenti tekoze kimala ku kusobozesa abantu okufuna ggaasi eyeeyambisibwa mu kufumba, kyokka n’asaba abantu okukyusa kubanga naye yali afumbisa manda nga tannafuuka minisita, wabula n’agavaako ng’amaze okuyingira minisitule.
Yasabye sipiika aweebwe obudde aleete lipooti ku bifo bye baakabunyisamu ggaasi, n'enteekateeka ku kubunyisa mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo.
Omubaka Gilbert Olanya (Kilak South) yagambye nti abateekesa mu nkola ekiragiro kino baakitaputa bulala, n’agamba nti Pulezidenti Museveni yasinga kukkaatiriza abatema emiti mu mambuka g’eggwanga, n’ategeeza nti okutema okutono okw’ekigero okubeezawo amaka, kwo kwakkirizibwa
Yasabye gavumenti esome ekiragiro kya pulezidenti ennyonnyole bye kirambika, n’ategeeza nti amaka mangi gayimiriddewo ku manda.
Wano sipiika we yasinzidde n’alagira ekiragiro kino kijira kiyimirira, okutuusa ku Lwokusatu lwa wiiki ejja nga gavumenti ereese lipooti enzijuvu, n’enkola endala abantu ze basobola okukweyambisa okufumba, n'enteekateeka yaabwe okubunyisa ggaasi okwetooloola eggwanga lyonna.