MUNNAMATEEKA Steven Kalali atutte abaddukanya SACCO ya poliisi eya Exodus Co-operative Savings and Credit Society Limited mu kkooti ng’ayagala baggalirwe lwa kuziimula kiragiro kya kkooti.
Ono ayagala abakulu okuli ssentebe wa SACCO, omuwandiisi ne CEO basibwe emyezi mukaaga ate baliwe ne ssente obuakdde 200 ez’okutaataaganya abaseriakle ssaako obukadde 300 ez’engassi.
Kalali empaaba ye agyesigamizza ku nsala ya kkooti gye yawa ng’eyimriza SACCO okutemako abaserikale ssente nga tebamaze kukkiriza ng’agamba wadde abakulu bano baafuna ensala ya kkooti kyokka baagenda mu maaso ne basala omusaala gw’abaserikale ky’agamba nti kityoboola ebiragiro bya kkooti.
Ono alumirizza abaddukanya SACCO okulemesa abaserikale abaagala okuva mu SACCO okuggyayo ssente zaabwe ky’agamba nti nakyo kimenya mateeka.
Kalali yeesigamye ku sitementi y’omuserikale Eliphaz Kasirye eya bbanka eraga nti wadde kkooti yayimiriza okubatemako ssente, SACCO yagenda mu maaso n’ezisala era nti kino kikosa nnyo abaserikale n’okutulugunyizibwa mu bwongo ssaako okukosa ebyenfuna byabwe.