Amawulire

Ssente za gavumenti eza PDM zaakakwasa abantu 552!

Ebikwekweto bino ebirimu CID, Crime intelligence, PSU, ba CAO,   , RDC n'ebitongole ebirala, biyindidde mu bitundu omuli Karamoja, Teso, Sebei, Busoga, Wakiso ne Luweero.

Ssente za gavumenti eza PDM zaakakwasa abantu 552!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 552 be baakakwatibwa mu bikwekweto by'okufuuza obubbi, obulyake n'okujingirira ebiwandiiko  ku ssente za PDM.

Balaama lwe yakunya abakulu b'amasomero ga Gavumenti e Malacha mu August w'omwaka guno, ku nzirukanya yaago n'ebyenfuna.

Balaama lwe yakunya abakulu b'amasomero ga Gavumenti e Malacha mu August w'omwaka guno, ku nzirukanya yaago n'ebyenfuna.

Ebikwekweto bino ebirimu CID, Crime intelligence, PSU, ba CAO,   , RDC n'ebitongole ebirala, biyindidde mu bitundu omuli Karamoja, Teso, Sebei, Busoga, Wakiso ne Luweero.

Ku bano 429 bamaze okutwalibwa mu kkooti ng'okunoonyereza kugenda mu maaso kyokka nga n'abalala badduse babayigga.

Abakwatiddwa, kuliko abakulira SACCO 251, abaami b'emiruka 81, abali ku bukiiko bwa PDM 25, aboobukiiko bwa LC1 23, abasomesa 5 n'abalala.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti bagenda mu maaso era n'alabula abo bonna abali emabega w'ebikolwa bino, okwetwala ku poliisi nga bukyali.

Tags:
Amawulire
Ssente
Bantu
PDM
Gavumenti