Amawulire

KCCA esabye abantu obutagattika Kasasiro kisobozese abamutwala okumuyiwa awatuufu

EKITONGOLE kya KCCA kiragidde abantu obutagattika kasasiro wabula bamwawule kisobozese abamutwala okumanya gwe batutte n’Embeera mwali. 

KCCA esabye abantu obutagattika Kasasiro kisobozese abamutwala okumuyiwa awatuufu
By: Eria Luyimbazi, Journalist @New Vision

EKITONGOLE kya KCCA kiragidde abantu obutagattika kasasiro wabula bamwawule kisobozese abamutwala okumanya gwe batutte n’Embeera mwali.

 

Akulira ebyóbulamu mu KCCA, Dr Sarah Zalwango bwe yabadde e Bukesa yagambye nti enteEkateeka zaAkoleddwa mu kifo gye bamutwla okulaba nga batwalayo yenna asunsuddwa n’okwawulibwa nga kino kyagendereddwamu okusobola okumukwata obulungi kuba abamu bye balaba nga kasasiro ate abalala basobola okubifunamu.

 

“Twagala okutegeezza Bannakamapala nti mwawule kasasiro wammwe kuba waliwo abagatta ebivunda mu bitavunda ate nga ebimu byabulabe. Twagala kkampuni ezimusomba okuva mu bantu okulaba nga ayawuddwa kuba kati e Buyala tugenda kutandika okukirizza oyo yekka asunsuddwa,” Dr Zalwango bwe yagambye.

 

Yagambye nti waliwo abasuula ebintu ebitavunda ate nga bya bulabe omuli waya za masannyalaze, endabirwamu n’ebicupa ebyatifu ne babigattika n’ebintu ebirala ekintu eky’obulabe kuba bingi birina kubeera byokka era nga waliwo n’ababigula nga KCCA b’ekwatagana nabo ku by’akasasiro.

 

Ssentebe w’omuluka gwa Bukesa, Hajjati Nampijja Musoke yagambye nti abamu ku batuuze bakyagaanyi okusima ebinnya nga beeyunira ku mifulejje gye bayiwamu ne gagenda kyokka tebamanyi gye galaga so nga basindikira abalala ebizibu n’obucaafu.

 

Sadat Sserumpanise owa Towa wukyafu yagambye nti abantu abatunda eby’amasannyalaze kasasiro abavaamu babadde bamala gamusuula songa wa bulabe nnyo kwe kusalawo okusala amagezi ne babafunira mwe basobola okumukung’aanyiza kuba waliwo kkampuni ezimugula. 

Tags:
KCCA
Kwawula
Mwawule