EMBEERA ya munnamateeka era abadde loodi mmeeya Ssalongo Erias Lukwago ezzeemu okutabuka n'atwalibwa mu ddwaliro e Mulago ng’ataawa.
Aggyiddwa mu ddwaliro ly’abakungu e Lubowa gyamaze ebbanga ng’akuumibwa n’okujjanjabibwa awatali kukiriza bantu bangi kugendayo kumulaba.
Babadde bakkiriza ba ffamire bokka okuli omukyala, munnamateeka n’omuyambi we ow’enjawulo.
Leero omukyala Nalongo Zawedde Lukwago akiriziddwa okumulaba kyokka embeera mwamusanze emutiisizza nattukiza okusaba abalina obuyinza bakirize bba atwalibwe mu ddwaliro ly’abakugu e India ng’abasawo mu ddwaliro e Mulago bwe baasemba mu lipooti eyatwalibwa mu kooti gye buvuddeko.
Looya we Medard Lubega Ssegona era eyali omubaka wa Busiro East ategeezezza Bukedde nti embeera ya Lukwago yatabuse mu kiro ekyakeesezza leero n'adusibwa e Mulago nga bukya ng’ataawa.
Agambye ng’oggyeko obujjanjabi bw'abasawo be Mulago mu woodi ya 6B gyali okujjanjabirwa yetaaga essaala ez’enjawulo kubanga embeera gyalimu tesanyusa.
Omwogezi wa makomera Frank Baine ategeezezza nti Lwakwago yatwaliddwa e Mulago leero ku makya abasawo okuddamu okumwekebejja. Ono asambazze ebyogerwa nti mulwadde muyi.
Lukwago nga y’omu ku balooya ba Besigye ne Hajji Obedi Lutale yakwatibwa nga June 15,2026 okuva mu maka ge Wakaliga kyokka agenda okukwatibwa nga mulwadde era amaze ebbanga ng’asaba okweyimirirwa asobole okugenda e bweru okufuna obujjanjabi obw’ekikugu kyokka oludda oluwaabi ne lugaana
Lukwago yaggulwako omusango gw’okusirikira amawulire agakwata ku kulya munsi olukwe n'agattibwa ku banne abasooka okukwatibwa okuli Dr. Kizza Besigye, Hajji Obeid Lutale ne Capt. Denis Oya Ola abavunaanoibwa ogw’okulya munsi olukwe.
ENDS