Yadde nga gavumenti ekola ekisoboka okutumbula ebyobulamu ng’eyongeza bajeti, omuwendo gw’abasawo n’amalwaliro, obuweereza bukyalimu ebirumira.
Peter Kaddu, omusomesa wa yunivasite era nga nnakinku mu kunoonyereza agamba nti ekimu ku bisobola okutereeza obuweereza mu byobulamu naddala mu malwaliro ga gavumenti kwe kuteeka essira ku bakozi. Agamba nti amalwaliro galina okubeera n’abakozi abatuufu mu bifo ebituufu mu kiseera ekituufu.

Peter Kaddu (wakati) mu ssuuti yakoze okunoonyereza ku biyinza okutereeza ebyobulamu

Omusomesa wa Yunivasite awabudde ku ddembe ly’obuntu
“Nnasalawo okukola okunoonyereza kuno nsobole okugatta ettoffaali ku kutereeza ebyobulamu mu ggwanga,” bw’agamba.
“Nnakizuula nti abakozi mpagi nnene nnyo mu bitongole n’amalwaliro.” Ayongerako nti ekitongole ne bwekibeera n’amateeka amalungi, ebikozesebwa ebyomulembe nga n’ebyensimbi byakyo binywevu, kyokka abakozi bwe babeera tebafiibwako mu ngeri y’okubateekateeka n’okubateeka mu bifo ebituufu, ekitongole ekyo kibeera mu matigga.

Robert Sebunnya wakati mu suit agamba nti okunoonyereza kwe kuyinza okubaako byekukyusa