Amawulire

Omusajja agambibwa okuba ow'omutawaana mu kubba ppiki n'azitunda e Bugiri poliisi emukutte!

OMUSAJJA agambibwa okuba ow’omutawaana mu kubba pikipiki e Bugiri n'azitunda e Bugiri, Busia, Butalejja ne Iganga akwatiddwa poliisi.

Omusajja agambibwa okuba ow'omutawaana mu kubba ppiki n'azitunda e Bugiri poliisi emukutte!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUSAJJA agambibwa okuba ow’omutawaana mu kubba pikipiki e Bugiri n'azitunda e Bugiri, Busia, Butalejja ne Iganga akwatiddwa poliisi.

 

Yakobu Tabo 25, omutuuze w’e Arubaine B mu diviizoni y’obuvanjuba bw’e Bugiri bamukwatidde Mugoona mu ggombolola y'e Buwunga e Bugiri ng'aliko pikipiki egambibwa okuba enzibe ng'agitunda.

 

Kigambibwa nti ono ne banne poliisi b'ekyayigga, baludde nga bapangisa pikipiki ne beefuula abaliko gye balaga olwo ne babulawo nazo, ne bazitunda ku bbeeyi entono ddala.

 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha , agambye nti omusibe akkirizza okwenyigira mu kubba ne banne abalala be bayigga era nga mu kiseera kino pikipiki nnamba UGJ 976 D gye bamusanze nayo, poliisi egirina ng'okunoonya nnyini yo, bwe kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Kutunda
Bugiri
Poliisi