OMUSAJJA agambibwa okuba ow’omutawaana mu kubba pikipiki e Bugiri n'azitunda e Bugiri, Busia, Butalejja ne Iganga akwatiddwa poliisi.
Kigambibwa nti ono ne banne poliisi b'ekyayigga, baludde nga bapangisa pikipiki ne beefuula abaliko gye balaga olwo ne babulawo nazo, ne bazitunda ku bbeeyi entono ddala.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha , agambye nti omusibe akkirizza okwenyigira mu kubba ne banne abalala be bayigga era nga mu kiseera kino pikipiki nnamba UGJ 976 D gye bamusanze nayo, poliisi egirina ng'okunoonya nnyini yo, bwe kugenda mu maaso.